TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnabyabufuzi abadde akolokota Kagame attiddwa mu bukambwe

Munnabyabufuzi abadde akolokota Kagame attiddwa mu bukambwe

Added 25th September 2019

MUNNABYABUFUZI omulala abadde akolokota Pulezidenti Paul Kagame attiddwa mu bukambwe.

 Syridio Dusabumuremyi eyatiddwa mu bukambwe

Syridio Dusabumuremyi eyatiddwa mu bukambwe

MUNNABYABUFUZI omulala abadde akolokota Pulezidenti Paul Kagame attiddwa mu bukambwe.

Bamufumise ebiso ku bulago, mu kifuba ne ku mutwe. Syridio Dusabumuremyi 42, ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ekivuganya Gavumenti e Rwanda ekya FDU-Inkingi, abatemu baamusanze mu ofiisi z'ekibiina mu kibuga Kigali ku Mmande akawungeezi.

Baasoose kwefuula abasaba obuyambi ne bajjuza akapapula awatuukirwa nga baagala okubaako bye bannyonnyola omukulu.

Bwe baatuuse mu ofiisi ye ne beesabika obukookolo mu mitwe ne baggyayo ebiso ebyogi ne batandika okumufumita. Baalese bamusse ng'omulambo guli mu kitaba ky'omusaayi ne bafuluma.

Tekyategeerekese bukugu bwe baakozesezza kubanga abaabadde ebweru awatuukira abagenyi tebaawulidde nsiitaano mu ofiisi ya mukama waabwe.

Ekibiina kya FDU-Inkingi, kikulirwa omukazi aludde ng'ateeka Kagame ku bunkenke Victoire Ingabire Umuhoza ate ng'eyatemuddwa ye mwogezi waakyo.

Victoire Ingabire Umuhoza alumiriza nti Gavumenti erina ky'emanyi ku kuttibwa kwa Dusabumuremyi kubanga Kigali alimu bambega kumpi buli wantu nga kizibu okukola obutemu n'otokwatibwa.

BAWEZE 10 ABAAKATTIBWA

Victoire agamba nti omugenzi awezezza abantu 10 abaakattibwa oba okuwambibwa mu bbanga lya mwaka gumu nga bonna bali ku ludda oluvuganya Gavumenti ya Kagame.

"Bonna abattiddwa bakoleddwaako obulabe kumpi mu ngeri efaanagana. Bakubwa masasi oba okufumitibwa ebiso. Ababatta beebikka obukookolo ku mitwe.

Ddala Gavumenti eyinza etya okutumatiza nti terina ky'emanyi?

Lwaki teriiko gw'ekwata n'emusingisa musango?" Victoire Ingabire Umuhoza bwe yeebuuzizza.

Emikutu gy'amawulire egyenjawulo gyakitadde ku kitongole ky'amagye ga Rwanda ekikessi ekiyitibwa Directorate of Military Intelligence (DMI) nti kyandiba emabega w'okutemula n'okubuzaawo bannabyabufuzi abavuganya Gavumenti.

Omukutu ogwa Great Lakes Post (GLPOST) gwategeezezza nti engeri Dusabumuremyi gye yattiddwa efaanana okufa kw'abalala abatwalibwa ng'abalabe ba Gavumenti y'e Rwanda.

Ate Victoire Ingabire Umuhoza, yategeezezza ekitongole ky'amawulire ekya The Associated Press ky'ekiseera ensi yonna eveeyo ku ttemu eriri mu Rwanda kubanga Kagame atuuse okumalawo bannabyabufuzi abamuvuganya.

Ingabire yaakayimbulwa mu kkomera gye yaggalirwa oluvannyuma lw'okusingibwa emisango gy'okukolagana n'abaagala okuwamba obuyinza nga bakozesa eryanyi, ye ky'agamba nti emisango mijweteke.

Yayimbuddwa omwaka oguwedde( 2018 ). Mu kkomera yamalayo emyaka munaana n'asonyiyibwa emyaka musanvu gye yabadde abuzaayo okumalako ekibonerezo eky'emyaka 15.

Yagambye nti ye tatya kuttibwa era ajja kwongera okwanika ebikyamu bya Kagame ne Gavumenti ye okutuusa nga yeekubye mu kifuba. Ingabire yagambye nti ettemu n'okuwambibwa kwa bannabyabufuzi abavuganya Gavumenti, bigendereddwaamu kutiisatiisa bammemba aba FDU-Inkingi, n'ebibiina ebirala ebivuganya Kagame bireme kwogera ku bikyamu n'ebikolobero ebikolebwa ku bannansi ba Rwanda.

Okuttibwa kwa Dusabumuremyi kujjidde mu kiseera nga bannabyabufuzi abooludda oluvuagnya bakyali mu kiyongobereo olw'okuttibwa kwa Anselme Mutuyimana, eyabuzibwawo mu March 2019, omulambo gwe ne guzuulibwa mu kibira nga guvunze.

Munnabyabufuzi omulala era nga mmemba wa FDU- Ikingi Eugene Ndereyimana yabuzibwawo mu July n'okutuusa kati tamanyiddwaako mayitire ate mmemba omulala Boniface Twagirimana eyali yakwatibwa n'aggalirwa mu kkomera kyokka kigambibwa nti yaggyibwayo nga kati tamanyiddwa gy'ali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.