TOP

Agambibwa okubuzaawo mukyala we akwatiddwa

Added 25th September 2019

POLIISI ekutte bba w’omukazi eyabuzibwawo abantu abatannamanyika nga kati awezezza wiiki bbiri nga tamanyiddwaako mayitire.

 Kabanda eyakwatiddwa.

Kabanda eyakwatiddwa.

Bya  VIVIEN NAKITENDE
 
POLIISI ekutte bba w'omukazi eyabuzibwawo abantu abatannamanyika nga kati awezezza wiiki bbiri nga tamanyiddwaako mayitire.
 
Deus Kabanda,  nga makanika mu Ndeeba era nga mutuuze w' e Buddo Naggalabi  yakwatiddwa abaserikale ba Poliisi ab'ekibnja kya Flying Squad oluvannyuma lw'okumuteebereza okubaako ky'amanyi ku  mayitire ga mukyala we, Jackline Nankya  22.
 
Ab'ebyokwewrinda  abali ku musango gwa Nakya babbidde ku Bukedde nti Kabanda  amannyiddwa ennyo mu Ndeeba olw'obukugu bw'alina mu kukanika mmotoka ez'ekika kya ‘ Golf', yasooka kufuna butakkaanya ne Nankya nga tanabuzibwawo.
 
 ankya eyabuze Nankya eyabuze.

 

Nankya bwe yabula Kabanda n'adduka awaka ne yeekukuma era aba Flying Squad baamukutte ku Lwokutaano oluwedde.
 
Aba Flying Squad baamukunudde mu bitundu by'e Nansana oluvannyuma lw'okumala wiiki bbiri nga bamuyigga. Baamutuusirizza ku Poliisi e Katwe gy'akuumirwa ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
 
Ensonda mu ba Poliisi e Katwe zaategeezezza nti  Kabanda mu kumukunya  yategeezezza nti, yafuna obutakkaanya ne mukazi we era ne balwanamu, nti kyokka baamala ne bakkaanya era enkeera yaasalawo aleke ng'amusibidde mu nnyumba naye ng'amulekedemu eby'okulya n'okunywa n'agenda mu kyalo ewaabwe (ewa kabanda) e  Masaka. Yaayongeddeko nti, oluvannyuma yakitegeerako nti maama wa mukyalawe yajja n'aggyamu muwalaawe mu nnyumba n'amutwala nti era kirabika y'amulina.
Abazadde bibasobedde.
 
Nyina wa Nankya, Grace Nabbosa agamba; 
Muwala wange abadde  mu bufumbo ewa  Kabanda era Kabandatumumanyi kuba yakyaala ewa ssenga w'omuwala. Yagambye nti Nankya abadde alina edduuka eritunda obuviiri bw'abakyala  ne saluuni mu kabuga k'e Wobulenzi, nga baateesa ne bba awaka akomawo nnaku zimu nazimu, endala asulayo ku mulimu e Wobulenzi.
" Ssaasooka kumanya nti omwana wange abuziddwaawo, naye bamaze akaseera nga balinamu obutakkaanya olwa Kabanda okumukubanga ne mu busonga obutono" Nabbosa bwe yagambye.
 
Yagasseeko nti, "Nga September 11, 2019, waaliwo ba kasitooma bange abaalina okunsasula ssente 2,500,000/-  naye nga nateekayo Nankya,  nga ye yekka alina okuggyangayo ssente ezo. Kasitooma ono yankubira essimu nang'amba nti Nankya agende anone ssente zange" bwe yagambye.
 
Nakubira mutabani (Kabanda) essimu ng'amusaba  Nankya agende anone ssente zino.
 "Bwe twali twogera ku ssimu nga musabye ampe Nankya anonere ku ssente zange, yantegeeza nti tebaliiwo baagenzeeko Masaka nti, bajja kukomawo enkeera, olw'okuba ssente nnali nzeetaaga mangu, n'addamu okukubira mutabani nga  njagala mugambe agambe Nankya ategeeze kasitooma nti agenda kumusindikira omuntu omulala anone ssente ezo, nga takwata ssimu.
 
Nakuba ne ku ssimu za Nankya naye nga tazikwata. Baze Bruno Kabiswa bwe yakubira Nankya Kabanda ye yagikwata  n'amumpa nenjogera naye", bwe yagambye.
 
"N'addamu okumusaba ampe ku Nankya, yang'amba mbu balina gye bagenze ne maamawe (n'azaala wa Nankya) olwo zaali ziri mu ssaawa mukaaga ez'emisana.
 
 abbosa maama wa ankya Nabbosa maama wa Nankya.

 

Naddamu okukuba essimu ku ssaawa 9:00 nga zonna tebazikwata. Nalaba obudde buziba ne nsaba ku muliranwa wange essimu ne ngikubisa naakwata,  Yaddamu n'antegeeza mbu Nankya ne nnyina baali tebanadda mbeere mugumiikiriza". Nabbosa bwe yagambye 
 
"Enkeera twasalawo tugende e Budo tulabe embeera eriyo, twasanga waggale ne tukonkona nga tewali aggulawo,twagenda ku poliisi e Katwe okuggulawo omusango ne batunsindika ku e Nsangi gye naaggulawo omusango gw'okubula kwa Nankya ku fayiro SD:28/12/09/2019.
 
Twagenda n'abaserikale ba poliisi y'e Nsanji awakaawe babuulirize, era twasanga wasibe. nga abaserikale baali baagala okumenya kkufulu newabaawo omukazi naatugamba nti temumenya , Deus alabika y'ali nemukazi we netuvaayo".
 
Ow'amawulire mu zooni ya Budo Naggalabi, Joseph Lugayaavu agamba; Kabanda mbadde mumanyi naye nga musajja mukozi tasiiba waka, nga kizibu okumuggya omuze gwonna.
 
Muliranwa wa Kabanda omu ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti, Kabanda musajja mulwanyi , akuba nnyo abakyala, nga waliyo n'eyanobanga  yagenda lwa miggo.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...