TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwoleso gwa URA okuddizza ku bakasitoma gujjumbiddwa

Omwoleso gwa URA okuddizza ku bakasitoma gujjumbiddwa

Added 26th September 2019

OKUTUUKA leero abantu bakyeyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso ogw’ennaku essatu ekitongole ekikuhhaanya omusolo ekya URA gwe kyategese okusiima n’okuddiza abantu abasasula omusolo.

 Akol (ku ddyo) nga yeetegereza ebintu ebikolebwa abakyala babajaasi ebyayoleseddwa.

Akol (ku ddyo) nga yeetegereza ebintu ebikolebwa abakyala babajaasi ebyayoleseddwa.

Bya SAMUEL BALAGADDE
 
OKUTUUKA leero abantu bakyeyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso ogw'ennaku essatu ekitongole ekikuhhaanya omusolo ekya URA gwe kyategese okusiima n'okuddiza abantu abasasula omusolo.
 
Ebimu ku bisinze okusikiriza abantu okugenda e Kololo kwe kugemebwa ‘Yellow Fever' ku bwereere n'oyo agoba ku pamiti bw'abeera nga yamalayo emitendera bagimuweerawo.
Omwoleso guno gwatandise ggulo ku Lwokusatu gukomekkerezebwe enkya ku Lwokutaano. Akulira URA, Doris Akol yagambye nti okwawukanako n'enteekateeka ebaddewo nga basinga kutiitiibya kkampuni ennene, omulundi guno essira balitadde ku kkampuni entonotono mwe basiimidde kkampuni eziwera 1,000.
 
Enteekateeka endala eziri mu mwoleso guno kuliko; okusomesa abantu ku ngeri ennyangu ey'okutandikamu bizinensi, okunoonyeza ebyamaguzi akatale, okunnyonnyola abantu ebikwata ku musolo gwe basasula n'okwanukulwa ebibuuzo eby'enjawulo ebikwata ku mpeereza za URA.
 bamu ku bantu abaabadde mu mwoleso gwa Abamu ku bantu abaabadde mu mwoleso gwa URA.

 

 
Omukolo gwagguddwaawo minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero, Amelia Kyambadde n'asaba URA okwongera okutunula mu nsonga za bannamakolero n'abasuubuzi naddala ababa batandika bizinensi okusobola okubawa enkizo mu ngereka y'omusolo.
 
Yasabye abakozi ba URA okukendeeza ku bukambwe bwe beeyambisa olumu nga basolooza omusolo kubanga olumu busukka ne buvaako n'okuggalawo bizinensi.
 
Akol yategeezezza minisita nti enteekateeka y'okusiima abawa omusolo bagibunyisizza ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo okusobola okumanyisa abantu nti buli nnusu gye batoola erina ky'egatta ku ggwanika ly'eggwanga.
 
Vincent Seruma omwogezi wa URA yagambye nti waliwo kkampuni ezibadduukiridde ne zibawa ebintu eby'enjawulo bye bagabira abantu mu mutima ogw'okubaddiza.
 
Bye bagaba kuliko ehhano, Face Technologies ekola ku bya ppamiti, National Drug Authority ebawadde eddagala, aba sooda n'obuwunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...