TOP

Omukazi afumise bba akambe mu kifuba

Added 26th September 2019

ABAFUMBO basoowaganye omukazi n’afumita bba ekiso mu kifuba n’amuleka ng’ataawa.

 Mutesi

Mutesi

Bya VIVIAN NAMAGEMBE

ABAFUMBO basoowaganye omukazi n'afumita bba ekiso mu kifuba n'amuleka ng'ataawa.

Bino byabaddewo ku makya g'Olwokusatu mu zooni ya Ssembule B mu muluka gw'e Kabowa mu munisipaali y'e Lubaga.

Rehema Mutesi 19, yeyavudde mu mbeera n'afumita bba Noel Mwesigye 28. ekiso mu kifuba ng'amulanga okumukubanga entakera.

Bano bamaze emyaka esatu mu bufumbo nga balina omwana omu.

Entabwe yavudde ku mukazi kukomawo matumbibudde ekyanyizizza omusajja n'amukuba n'omukazi mu kwetaasa n'akwata ekiso n'akimusogga mu lubuto. Abadduukirize baakutte Mutesi ne bba ne babatwala ku poliisi ya Kironde mu Ndeeba. 

 wesigye Mwesigye

 

 Ku poliisi Mwesigye yagambye nti, mukyal awe asusse okukomawo amatumbibudde ng'agamba nti ava kukola ng'olumu akomawo ssaawa musanvu ogw'ekiro,  ate aba y'akakomawo essimu neetandika okuvuga n'agaana okugikwata ng'agamba mbu abo ba kasitooma be baaguza engoye. 

Mutesi yagambye nti, kituufu yakomyewo kiro awaka nti naye yeetondedde bba kubanga yatambuzza bigere okuva mu kibuga gye yabadde atembeeya engoye ekyamuleetedde okutuuka ekikeerezi. Wabula Mwesigye yagaanye okumuwuliriza naatandika okumukba naye mu kwetaasa kwe kukwata ekiso n'akimufuta.

Justus Bwire akulira poliisi y'e Kironde yategeezezza nti Mutesi yagguddwaako gwa kugezaako kutta muntu ku fayiro nnamba SD:03/25/09/19

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...