TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaaliko ba RCC e Kawempe balaze obuzibu obuli mu ofiisi eno

Abaaliko ba RCC e Kawempe balaze obuzibu obuli mu ofiisi eno

Added 27th September 2019

ABAALIKO mu ofiisi ya RCC e Kawempe bakungubagidde munnaabwe eyabaddira mu bigere Deborah Mercy Nabukenya 34, eyafudde ekibwatukira ku Lwokubiri ekiro.

 Yahaya Kakooza ng’akwasa Nabukenya ofiisi. Wakati ye Hajjati Aisha Kabanda.

Yahaya Kakooza ng’akwasa Nabukenya ofiisi. Wakati ye Hajjati Aisha Kabanda.

Bya BASASI BAFFE
 
ABAALIKO mu ofiisi ya RCC e Kawempe bakungubagidde munnaabwe eyabaddira mu bigere Deborah Mercy Nabukenya 34, eyafudde ekibwatukira ku Lwokubiri ekiro.
 
Balaze obukalubo bwa ofiisi eno naddala entalo z'obutale, ttakisi, ababbi b'ettaka ne bannabyabufuzi abasika omuguwa.
 
Edward Ssekabanja ofiisi eno yagimalamu emyaka ena, era yategeezezza nti, ofiisi eno nzibu nnyo kubanga abantu baayo si bangu bw'ogeraageranya n'aba munisipaali za Kampala endala.
 
Ssekabanja yagambye nti,Kawempe alimu enkaayana nnyingi omuli abattakisi, aboobutale, ababbi b'ettaka nga bonna ensonga zaabwe zisibira wa RCC okuzimaliriza ate ng'omuntu eyasindikibwa Pulezidenti okuyamba omuntu wa wansi, toyinza kubaamu kyekubiira.
 
Yagasseeko nti, olw'amazima ga RCC kw'aba ayimiridde, b'aba asalidde omusango basigala bamwetisse era eno y'embeera Nabukenya gy'abadde akoleramu.
 
Abadde mu nkaayana za takisi ku paaka ya Ddembe e Bwaise, ensonga z'obutale
n'ababbi b'ettaka abagobaganya abantu.
 
Ssekabanja yagambye nti, bwe yali mu ofiisi eno, omusajja gw'ataamanya bimukwatako yali amukubidde mu ofiisi.
 
Agamba nti, omusajja lumu yamusanga mu ofiisi ku makya n'amubuuza nti, ‘Ssebo gwe RDC?'. Ssekabanja yagambye nti, yamutebuka n'amugamba nti ‘ Ssi ye nze' n'amulagamu omu ku bakozi mu ofiisi ye omusajja gwe yakuba ebikonde.
 
Yayongeddeko nti, n'abantu b'e Kawempe baloopaloopa nnyo mu ofiisi z'abanene buli kasongaakabeerawo banguwa okukaloopa kubanga balina abanene bangi be bamanyi.
 
"Ekintu kimu ekyetaagisa okukola mu Kawempe buli muntu amanye omulimu gwe, bannabyabufuzi baleme kulowooza nti RCC bw'aba alondoola emirimu gya Gavumenti n'abaako by'azuula ebikyamu aba alinnyiridde buyinza bwa munne," Ssekabanja bwe yagambye.
 
Agattako nti, waliwo n'ekizibu ekirala eky'okulwanira obuyinza wakati wa RCC ne bannabyabufuzi ku ani ali waggulu w'ani.
 
 ohn simbwa John Ssimbwa

 

John Ssimbwa; Ekizibu kinene nnyo kubanga abantu balaba ba RDC ng'abalabe baabwe ababalemesa okukola bizinensi.  Ababbi b'ettaka, abagoba abantu mu bizimbe mu bukyamu, abalina ttenda za Gavumenti abakola emirimu gadibengalye, abazimba obutale,aba takisi n'abalala bye bakola birina kulondoolwa RCC wabula bw'agezaako
okulingizaayo mu bye bakola, bamulaba ng'omulabe ate naddala nga mukozi nga Nabukenya bw'abadde.
 
"Nabukenya abadde mu ntalo za ppaaka y'e Bwaise ng'alwanagana n'ekiwayi kya
Ssemango era abo b'abadde alwanagana nabo babadde bamutwalira ddala nga mulabe waabwe nnamba emu. "Bwoba olondoola emirimu gya Gavumenti, olinnya ku bigere by'abantu bangi abalowooza nti bo tebagambwako era mu kino, Nabukenya ku ngeri gy'abadde akolamu emirimu gye n'okwagala amazima n'obwenkanya, alinnye bangi ku
bigere," Ssimbwa bwe yategeezezza.
 
Kigozi Kaweesa; Ofiisi ya RCC e Kawempe yagimalamu emyaka munaana, we yagiviiramu, yali afunye obuzibu ku kugulu kyokka agamba nti, obuzibu tebwalina
kakwate ku ofiisi.
 
Ono kati ali Kyankwanzi mu ttendekero ly'ebyobufuzi era yagambye nti, yafuna obuzibu mu lutalo akapapajjo k'essasi ne kamusigala mu mugongo era kano ke kaavaako obuzibu ku kugulu ne bamutwala e Buyindi ne bakaggyamu naddamu okutambula wadde ng'ayambibwako n'emiggo.
 
"Tetukyewuunya kubanga abantu bawanuuza nnyo, abamu ne batuuka n'okugamba nti byandibaamu ensonga endala; kubanga waliwo abazze babeera mu ofiisi yeemu ne bafuniramu ebizibu.
 
Nakati ndi mulwadde era ntambulira ku muggo, wabula mpeereza," Kigozi bwe yagasseeko. Ebiwanuuzibwa ku ba RCC mu Kawempe abazze bafuna ebizibu tebiriiko mutwe na magulu kubanga ye obuzibu bwe yafuna bwava ku ssasi.
 
Yahaya Kakooza; Nnayambibwa kubanga nagenda okufuuka RCC wa Kawempe, nnali mmaze ekiseera ekiwerako nga mwe nkolera era nga ntegeera bulungi awali obuzibu naddala obukwata ku nsonga z'ebyokwerinda n'obutebenkevu.
 
Olutalo lwange olunene nnalulina ku bamenyi b'amateeka era nnafuba okubalwanyisa
era sirina kusoomoozebwa kunene kwe nasanga.
 
Nze nnakwasa Nabukenya ofiisi era wadde yali muto mu myaka, naye abadde mukulu mu birowoozo ne mu nkwata y'ensonga.
 
Nga yaakajja, waliwo abantu mu Kawempe abaali bamunyooma olw'emyaka era ne nfuba okubawabula nti omuntu gwe bafunye alimu ekyama baleme kutunuulira myaka era ne bampuliriza era oluvannyuma bankubiranga amasimu okuntegeeza nti baali bamunyooma, naye mukyala mukozi nnyo.
 
Abadde yeebuuza ate ng'assa ekitiibwa mu buli muntu. Nga yaakajja e Kawempe,
yankubiranga nnyo amasimu okunneebuuzaako ate ng'afuba okussa mu nkola ebirowoozo ebiba bireeteddwa.
 
Ebiseera bye eby'omu maaso bibadde bigenda kuba bitangaavu kubanga abadde mukozi, muwulize ate ng'awuliriza buli muntu. Tufiiriddwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale

Mutale awabudde Museveni: '...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni nti ekya NRM okuwangulwa mu Buganda si kubeera basosoze mu mawanga,...

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...