TOP

Abazigu bayingiridde Abazungu ne babatema

Added 27th September 2019

ABAZUNGU 10 bamaze emyaka esatu nga bapangisa amaka agali mu kikomera e Mengo. Eno ababbi gye baabalumbye ekiro ne babatema ebijambiya n’okubanyagulula.

 Omuzungu ng’afuluma mu kikomera gye baalumbye.

Omuzungu ng’afuluma mu kikomera gye baalumbye.

Bya PATRICK KIBIRANGO NE MOHAMMED SEBULIBA
 
ABAZUNGU 10 bamaze emyaka esatu nga bapangisa amaka agali mu kikomera e Mengo. Eno ababbi gye baabalumbye ekiro ne babatema ebijambiya n'okubanyagulula.
 
Bonna nzaalwa z'e Netherlands nga babadde basinziira Mengo mu Zooni ya Bulange A ku lw'e Sentema okutalaaga ebitundu eby'enjawulo nga bakola omulimu gw'okuyamba n'okubudaabuda abantu. Bakolera mu kibiina ekimu eky'obwannakyewa (Non Government Organization).
 
Baabayingiridde busaasaana ku ssaawa nga 10:00 mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokuna. Bapangisa nnyumba ya Muky. Suzan Kibebbere eriraanye amaka g'omugenzi Polof. Apolo Nsibambi.
 
Poliisi eyakuliddwa omuduumizi wa Kampala n'emiriraano, Moses Kafeero yayanguye okutuuka n'esalako ekitundu n'ebimotoka byayo olwo n'etandika okufeffetta abatemu.
 
 no poliisi yamukutte okugiyambako okunoonyereza ebyekuusa ku butemu buno Ono poliisi yamukutte okugiyambako okunoonyereza ebyekuusa ku butemu buno. 
 
Nnannyini nju, Muky. Kibebbere yategeezezza nti ababbi baasaze ssehhenge ne bayingira ekikomera. Baakutte omuserikale akuuma ne bamutulugunya.
 
Mu kwerwanako yakubye enduulu kyokka ne bamusala ekiso ku bulago n'asirika. Baamusibye akandooya.
 
Mu kuwanjaga, Abazungu bagguddewo enzigi okudduukirira ne kiwa omukisa ababbi okwanguyirwa okuyingira.
 
Baakuhhaanyizza Abazungu ne babassa mu kisenge kimu, ne batandika okubatema ebijambiya nga bwe babasaba ssente.
 
Aba LC baagambye nti ku Bazungu 10, baatemyeko bataano. Kyokka amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Lucas Owoyesigyire oluvannyuma yategeezezza Bukedde nti ababbi baabadde munaana.
 
Baanyaze ssente obukadde 26, essimu z'omu ngalo mwenda ne kompyuta (laptop) munaana.
 
Yagasseeko nti ababbi baalumizza nnyo abakuumi abaabadde mu kifo kino Patrick Komaketch ne Ivan Tenywa era baabadde bakyali mu mbeera mbi ddala nga bajjanjabirwa Mulago.
 
Yagambye nti Abazungu abaatemeddwa ebijambiya bali basatu.
 
Poliisi yabadde tekkiriza Bazungu kwogera na bannamawulire ate ne Kafeero yasoose kugaana kwogera okutuusa nga bamaze okutaasa obulamu n'okuzuula ekituufu.
 
Muky. Kibebbere yagambye nti Abazungu amaze nabo emyaka esatu.
 motoka ya poliisi ngefuluma okuva bazungu we baatemedde Mmotoka ya poliisi ng'efuluma okuva Abazungu we baatemedde.

 

 
Yabanjula mu boobuyinza ne babakkiriza okukola nga basinziira awo.
Ssentebe wa LC1 owa Bulange A, Edward Senkumba yategeezezza Bukedde nti obulumbaganyi buddiridde obwabaddewo wiiki bbiri eziyise, abeebijambiya bwe baalumbye ebikomera bibiri ebyawula n'ekya Kibebbere.
 
Ekikomera ekimu kya Mw. Beshebeho. Baanyaze n'okuleka abaabadde mu bikomera bino nga babasibye akandooya.
 
Abaalumiziddwa (Abazungu) yategeezeddwa nti baabatutte Nakasero kyokka Bukedde yabadde tannabalaba eggulo.
Waliwo omuvubuka eyakwatiddwa e Bulange okuyambako poliisi mu kubuuliriza kwayo.Bino bijjidde mu kiseera nga waliwo obunkenke bw'ettemu eryeyongedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....