TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakkansala batuuse kikeerezi Lukwago n'ayiwa olukiiko

Bakkansala batuuse kikeerezi Lukwago n'ayiwa olukiiko

Added 27th September 2019

LOODI MMEEYA Erias Lukwago atabukidde bakkansala abatuuka ekikeerezi n’asalawo okuyiwa olukiiko nga bw’agamba: Siri ku bassemugayaavu!

 Bakkansala abatono abaabadde mu lukiiko nga Lukwago (mu katono) tannaluyiwa.

Bakkansala abatono abaabadde mu lukiiko nga Lukwago (mu katono) tannaluyiwa.

Bya ERIA LUYIMBAZI
 
LOODI MMEEYA Erias Lukwago atabukidde bakkansala abatuuka ekikeerezi n'asalawo okuyiwa olukiiko nga bw'agamba: Siri ku bassemugayaavu!
 
Lukwago we yayingiridde ekisenge ekiteesezebwamu ku ssaawa 4:00 ez'oku makya g'Olwokuna, nga mulimu bakkansala basatu bokka.
 
Yasazeewo okubawaayo eddakiika 15 wabula n'abaabadde bazze ate ne basooka bafuluma okugenda okunywa ccaayi.
 
Lukwago yasazeewo okuva mu mbeera n'agamba nti bakkansala tebalaze buvunaanyizibwa obutakwata budde so nga waabaddewo ensonga enkulu ezirina
okuteesebwako.
 
"Kyewuunyisa nti lwe twasembayo okutuula twakkaanya nti tujja kutuula ku Lwokuna (eggulo) ku ssaawa 4:00 ez'oku makya naye bakkansala tebalabiseeko.
 
Kino kiraga basussizza obulagajjavu ne beerabira omulimu ogwabatumwa abalonzi," Lukwago bwe yategeezezza.
 
Yagambye nti okutuuza olukiiko waliwo ssente ezisaasaanyizibwa.
 
Yategeezezza nti ezimu ku nsonga ezaabadde zirina okuteesebwako kuliko ezikwata ku katale k'e Wandegeya naddala ezeekuusa ku bukulembeze kuba akakiiko akaateekebwawo kaabadde kalina okuwa lipoota ku bizuuliddwa.
 
Amyuka dayirekita wa KCCA, Samuel Sserunkuuma yasabye Lukwago asse bakkansala ku nninga bannyonnyole lwaki tebaalabiseeko kubanga abakulira ebitongole baawaddeyo obudde bwabwe ne bajja.
 
Wano Lukwago we yasinzidde n'aggalawo olukiiko n'alagira luddemu okutuula nga October 3, 2019 okutandika essaawa 3:00 ez'oku makya.
 
Olwo zaabadde essaawa 4:30 ez'oku makya, bakkansala ne batandika okutuuka kyokka nga lwo olukiiko luyiise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...