TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alayidde okufaafaagana n'abaatemyeko omukazi omutwe

Minisita alayidde okufaafaagana n'abaatemyeko omukazi omutwe

Added 27th September 2019

KAABADDE kaseera ka nnaku mu kuziika omukyala Dimitria Nante Nabasumba 60, agambibwa okutemebwatemebwa omuvubuka Francis Namutale 27, ebiso emisana ttuku n’amutta.

 Minisita Kasolo n’abamu ku bamulekwa omugenzi Nabasumba (mu katono) b’abadde alabirira.

Minisita Kasolo n’abamu ku bamulekwa omugenzi Nabasumba (mu katono) b’abadde alabirira.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA
 
KAABADDE kaseera ka nnaku mu kuziika omukyala Dimitria Nante Nabasumba 60, agambibwa okutemebwatemebwa omuvubuka Francis Namutale 27, ebiso emisana ttuku n'amutta.
 
Kigambibwa nti Namutale ne banne baasoose kutuuza lukiiko mwe baasaliddewo okutta Nabasumba beddize ebyobugagga bye ne bba omugenzi Paulo Jjuuko naye eyafa emyezi ebiri egiyise.
 
Bino byabadde ku kyalo Kyanika B mu ggombolola y'e Kabira mu disitulikiti y'e Kyotera
wakati mu bakungubazi okusaba Gavumenti eyambe okukwata abatemu n'okuzzaawo ekibonerezo ky'akalabba eri abasingibwa ogw'obutemu.
 
Nabasumba yaziikiddwa ku kyalo Njeru mu muluka gwe Nakatoogo mu ggombolola y'e Nabigasa ng'okusabira omwoyo gwe kwakulembeddwaamu omusomesa Joseph Mugalula ow'ekisomesa ky'e Makonzi eyennyamidde olw'engeri ey'obukambwe Nabasumba gye yatemuddwaamu n'asaba abeebyokwerinda naddala poliisi okunoonya abatemu bonna
bakwatibwe.
 
Okuziika Nabasumba kwetabiddwaako ne minisita wa Micro Finance, Haruna Kyeyune Kasolo eyategeezezza ng'ettemu lino bwe lyamukubye ewala n'awera nti agenda kuyambako famire okulaba nga bonna abaabadde mu lukiiko okuteesa ku ttemu lino bakwatibwa. DPC wa Kyotera, Rosette Sakahwa yategeezezza nti baakakwata abantu basatu ku ttemu lino era bagguddwaako gwa butemu ng'abalala bakyanoonyezebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...