TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyaliisa omwana wa bba omusaayi gwe bamusibye myaka 2.

Eyaliisa omwana wa bba omusaayi gwe bamusibye myaka 2.

Added 27th September 2019

OMULAMUZI w’edaala erisooka mu kkooti ento e Mukono, Patience Koburunga asindise Annet Namata ow'emyaka 32 mu kkomera amaleyo emyaka ebiri oluvannyuma lw'okuliisa omwana wa bba Yunusu Lukungu omusaayi ogwali guva mu bukyala bwe. Namata omukwasi w'enseenene era nga mutuuze ku kyalo Kitega mu Mukono Central Divisionye yakaligiddwa emyaka ebiri mu nkomyo oluvannyuma lw'okukkiriza omusango guno ng'aleeteddwa mu kkooti.

 Omuserikale w'amakomera ng'awerekera Namata okumuzza mu kaduukulu.

Omuserikale w'amakomera ng'awerekera Namata okumuzza mu kaduukulu.

Bya ERIC YIGA

 

OMULAMUZI w'edaala erisooka mu kkooti ento e Mukono, Patience Koburunga asindise Annet Namata ow'emyaka 32 mu kkomera amaleyo emyaka ebiri oluvannyuma lw'okuliisa omwana wa bba Yunusu Lukungu omusaayi ogwali guva mu bukyala bwe. 

Namata omukwasi w'enseenene era nga mutuuze ku kyalo Kitega mu Mukono Central Divisionye yakaligiddwa emyaka ebiri mu nkomyo oluvannyuma lw'okukkiriza omusango guno ng'aleeteddwa mu kkooti. 

 

Okusinziira ku muwambi wa gavumenti,  Irene Namboozo, nga July 6, 2019, ku kyalo Kitega, Namata yakwata omwana wa bba (amannya gasirikiddwa) ow'emyaka 13 ng'asoma P6 n'amuliisa omusaayi mu mmere. 

Namata okukkiriza kyaddiridde omuwambi wa gavumenti Irene Namboozo okuleeta abajulizi mu kkooti era Namata olwabalabye n'awanika omukono n'asaba omulamuzi okuddamu okumusomera omusango gwe, era bwatyo n'agukkiriza.

 

Omulamuzi Koburungi yategeezezza mu nsala ye ng'ono bwabadde agwaana okusibwa emyaka musanvu kyokka n'amusalira ebiri olwobutatawaanya kkooti. Kino tekyalobedde Namata kusaba kumusalirako ng'agamba nti alina abaana balabirira. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...