TOP

Omuyizi wa UCU afiiridde mu kidiba kya wooteeri

Added 27th September 2019

POLIISI e Mukono etandise okunonyerezza kungeri omuyizi w’etendekerolya Uganda Christin University e Mukono abadde mu mwaka gwe ogusebaayo gye yafiiridde mu kidiba ekiwugimrwamu ku hotel emu esangimbwa mu kibuga Mukono.

 Omugenzi Kamanzi

Omugenzi Kamanzi

Bya ERIC YIGA

POLIISI e Mukono etandise okunonyerezza kungeri omuyizi w'etendekerolya Uganda Christin University e Mukono abadde mu mwaka gwe ogusebaayo gye yafiiridde mu kidiba ekiwugimrwamu ku hotel emu esangimbwa mu kibuga Mukono.


Omugenzi yategeerekese nga Nathan Kamanzi ng'abadde asoma essomo lya
Human Resource Management.Yafiiridde Hasteh Royale Hotel esangibwa ku kyalo Njerere - Nantabulirirwa mu Goma division mu district y'e Mukono ng'eno ekyali mu kuzimbibwa.


Okusinzira ku mwogezi w'entendekero lino Walter Washika yategezezza
Bukedde nti omuyizi ono okufa kyaddiridde okugenda mu kifo kino
n'abane abalala basatu akawungeezi k'eggulo okuzannya omupira
kyokka nga o kigambibwa nti babadde batamidde.


Washika agamba nti oluvanyuma lw'abayizi banno okumaliriza okuzaanya
omupiira babuuse omulundi gunno nebagwa mu swimming pool ne batandiika
okuwunga, nekyadiridde ye Kamanzi eyabadde atamidde okutandiika
okuwanika emikono wakati mu mazzi nga mu kavuvugano kanno alambirira
ekidiba kino kwekujja namugyamu nagezaako okumuwa obujjanjjabi
obusekerwako.

Ono agenze mu maaso nannyonnyola nti, abakulira ekifo kino baategeezezza abakulira eby'okwerinda ku ttendekero lino nabo abaasitukiddemu okugenda okulaba embeera wabula ye eyabadde alabirira ekifo kino teyalinze Ambulence nasalawo okumuteeka mu boda boda okumuddusa mu ddwaaliro lya UCU okusobola okufuna obujjanjjabi obusokerwako.


Okusinzira ku Dr. Robert Kajubi omu ku bakulira kiriniki ya UCU
eya Allan Galpin Clinic yategeezezza abatwala entendekero lino nti mu kiseera we baatusirizza omuyizi ono yabadde amaze okufa olw'amazzi amangi ge yabadde amize, era nga banno oluvannyuma omulambo bagwongeddeyo mu ggwanika ly'eddwaaliro lya Mukono Church Of Uganda Hospital.



More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...