TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Mbega wa CIA eyakesse Trump ayongedde bwiino

Mbega wa CIA eyakesse Trump ayongedde bwiino

Added 28th September 2019

MBEGA w’ekitongole kya Amerika ekikettera munda ekya CIA eyakesse Pulezidenti Donald Trump ng’apanga okusiiga gw’avuganya naye Joe Biden enziro ayongedde bwiino.

Mbega ono omukambwe afulumizza ekiwandiiko kya miko musanvu ng'alumiriza Trump n'abakozi mu maka g'Obwapulezidenti aga White House okumanya emisango gino ne basalawo okugibikkirira.

Okusinziira ku lupapula lwa New York Times, mbega ono yasindikibwa ekitongole kya CIA okulondoola ebigenda mu maaso mu maka g'Obwapulezidenti era omulimu guno abadde agukola.

Mu kiwandiiko kino, mbega alumiriza nti abakozi ba White House bwe baamala okuwulira emboozi ya Trump ne Pulezidenti wa Ukraine ng'amufalaasira okunoonyereza ku Joe Biden ne mutabani we, Hunter, baasalawo okugisangula mu bifo by'olukale omuterekebwa bwiino ne fayiro eza Pulezidenti n'abagenyi be ne babikweka mu kifo ekirala (server) era ne bakyusa n'amapeesa (codes) agaziggulawo ne beesirikira.

Nti yamaze kubanyigiriza nnyo n'okutandika okwasa ebyama olwo ne bagikkiriza okuziggyayo.

Mbega era yayongeddeko nti azudde nga Trump ne banne bakola ebintu ebimenya Semateeka wa Amerika bingi abakozi abandibyanise ate ne babibikkirira.

Ekiwandiik kya mbega ono bwe kyafulumye, Trump eyabadde mu kibuga New York yataamye n'alangirira nti kati bali mu lutalo.

Yasinzidde mu wooteeri ggaggadde eyitibwa Intercontinental Hotel e New York n'awera okufiira ku mbega eno n'abo baasuubiriza nti akola nabo.

Kyokka aba Democrats baamwambalidde nti akomye okutiisatiisa abantu alindiridde kiddako.

Ebyazuuliddwa mbega eno byebavuddeko sipiika wa palamenti ya Amerika esookerwako Nancy Perosi okulangirira mu butongole nti batandise ku lugendo lw'okugoba Trump ku bwapulezidenti ng'ekisanja kye ekisooka tekinnaggwaako.

Trump, ebintu byatandise okumwonoonekera mu August omwaka guno bwe kyazuuse nti yakubira Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelensky n'amupepereza okusiiga enziro Munnabyabufuzi Joe Biden eyaliko omumyuka wa Pulezidenti mu biseera bya Barrack Obama.

Biden y'omu ku beesowoddeyo okumwesimba ku Trump mu kalulu aka 2020.

Ng'ebula omwaka mulamba okutuuka ku kalulu mu November 2020, Biden aleebya Trump mu kunoonyereza okukoleddwa mu balonzi singa akalulu kakubwa leero, era Trump abadde yaggula ku Biden olutalo lw'ebigambo n'ekigendererwa ky'okumunafuya mu balonzi.

Essimu eyazaalidde Trump ebizibu mbega n'agiketta yagiwugulumiza Pulezidenti Zelensky nga July 25, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...