TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mohan Kiwanuka ensimbi zimuyitaba: Amenyewo abagagga b'omu Kampala

Mohan Kiwanuka ensimbi zimuyitaba: Amenyewo abagagga b'omu Kampala

Added 28th September 2019

OMUSANGO gw’ebyafaayo gulaze omusajja omu ku basinga obugagga mu Kampala atamanyi bagagga ababadde boogerwako nga Godfrey Kirumira n’abalala.

 Omugagga Kiwanuka

Omugagga Kiwanuka

Naggagga ono ye Mohan Kiwanuka, azuuliddwa nti bifekeera alina ensimbi empya n'enkadde ezeeyolekera mu by'obugagga by'alina omuli ettaka, ebizimbe, amakampuni n'ebiralala.

Ebyobugaggabwe okumanyika famire ye yamaze kujjamu butategeeragana wakati we ne mutabaniwe ayitibwa Jordan Ssebuliba eyamututte mu kkooti ng'ayagala aweebwe olukusa atwale kitaawe mu ddwaaliro akeberebwe omutwe ng'alumiriza nti takyali mu mbeera nnungi emusobozesa okuddukanya eby'obugagga bwe.

Ebimu ku by'obugagga ebibadde bimanyiddwa ku Kiwanuka, ye; leediyo okuli Radio One, Radio Two eziri mu kibuga wakati n'ekyuma ky'empapula ekya OSCAR Industries.

Omusango Kiwanuka mwazuzumba ne mutabani we ye yabadde emmanduso y'okumanya eby'obugagga bwe by'amaze ekiseera ng'akuumye.

Wakati mu nkaayana zino, Kiwanuka yateeka ettaka lye ku katale erisangibwa mu Division y'e Kira eribalirirwamu obuwumbi bw'ensimbi 10, ng'ensimbi zino ayagala azikozese okumaliriza ekkolero ggagadde erikola amayinja ag'omuwendo (marble) lyazimba mu bitundu by'e Moroto.

Ebyobugagga bwa Kiwanuka biwuniikiriza, nga n'ekimu ku byewuunyisa, ettaka lyalina erisinga obungi lisangibwa Kololo era nga ku ttaka lino erisinga obungi alinako amayumba ag'ebbeeyi agapangisibwa bayinvesita, ebitongole by'obwannakyewa, n'abagagga ssekinnoomu.

 

Amakampuni ge, gali mu mbeera nnungi nga gakola ssente ate ng'akyayongera okussaawo ebintu ebipya omuli okuzimba ekkolero ggagadde ery'amayinja ag'omuwendo (marble) nga kigambuibwa nti amayinja gano kye kimu ku by'ebbeyi ebyettanirwa mu nsi yonna.

Abagagga bangi ab'omu Kampala, Kiwanuka w'abayitirako, g'emakolero amangi gaalina era nga y'omu ku bantu abasuubirwa okuba nga be basinga okukozesa abantu abangi. Amakampuni gano gawerera ddala 32.

Ekizimbe okuli Leediyo One ne Akaboozi ku bbiri ku Kampala Road.

Engeri Kiwanuka gye yawandisaamu amakampuni ge ya kikugu nnyo nga tegali mu mannya ge, ekyokulabirako, okukebera obwannannyini bw'emu ku kkapuni zino osanga nga yawandiisibwa mu linnya lya kkampuni ndala ng'olina okuyita mu mitendera nga mukaaga okutuuka ku linnya lye kennyini.

Ekimu ku biraga amaanyi ga Kiwanuka mu by'obugagga, okisanga ku luguudo oluyitibwa Ridgeway Drive e Kololo, nga ku luguuno luno ebizimbe kumpi byonna ebiriko bibye kyokka nga tekuli kuyisikamu maaso n'okubeera mu kifo eky'ebbeeyi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....