
Katikkiro Mayiga ng’atongoza ebitabo ebyawandiikiddwa Kayima.
Bino yabyogeredde ku mukolo kwe yatongolezza ebitabo bibiri ebyawandiikiddwa ofiisa wa opoliisi, Emiliano Kayima okuli ekiyitibwa, Omuzadde n'omwana ne ‘Raising Great Children' nga gwabadde ku Hotel Africana ku Lwokuna nga September 26, 2019 akawungeezi.
" Nnina amaka ge mmanyi ng'abaana buli kye babuuza bajulizibwa yintaneti okufuna ekiddibwamu era bagiyita ‘Mr. Google' nga bwe bwafuuka obulamu bwabwe. Kino kireka abaana nga tebafunye kugunjulibwa kusaanidde. Obuntubulamu, okuyigiriza abato obukulembeze n'obuvunaanyizibwa," Katikkiro Mayiga bwe yawadde amagezi ku ngunjula y'abaana.
AIGP Asan Kasingye ye yakiikiridde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga n'ategeza nti musanyufu okuba nti Kayima abadde mu mikono gye okuva lwe yeegatta ku poliisi mu 2004 era n'amutendereza olw'okuwandiika ebitabo mu buli kitongole kya poliisi ky'abaddemu.
Kasingye yayogedde ku Kayima ng'omuntumulamu era omuweereza omulungi n'abotola ekyama nti bwe yabuuzibwa nti ani alina okudda mu kifo kye ng'omwogezi wa poliisi, yawaayo linnya lya Kayima kyokka yamwetondedde nti teyagenderera kumuleetera bizibu.
Ye Ssentebe wa Buganda Twezimbe, John Fred Kiyimba Freeman yawadde Kayima amagezi ekitabo ky'Olungereza akikyuse ne mu Luganda.
Omukolo gwetabiddwaako Bp. Serverous Jjumba ow'e Masaka, minisita w'amawulire e Mmengo Noah Kiyimba, eyaliko omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Cossy Odomel n'abalala.
Godfrey Kirumira(omugagga w'omu Kampala) ye yakulembeddemu okugula ekitabo ne 5000,000/-, Ephraim Ntaganda 3,000,000/-, Kiyimba Freeman 2,000,000/- nga byaguze ensimbi eziwerera ddala.