TOP

Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu

Added 30th September 2019

REMA Namakula ayogedde ne Eddie Kenzo ku ssimu. Guno gwe mulundi ogusoose okunyumya bukya Rema amusiibula mu butongole ng’agenda ewa Dr. Hamzah Ssebunya gw’ateekateeka okwanjula nga November 14, 2019.

 Rema

Rema

Bya MARTIN NDIJJO
 
REMA Namakula ayogedde ne Eddie Kenzo ku ssimu. Guno gwe mulundi ogusoose okunyumya bukya Rema amusiibula mu butongole ng'agenda ewa Dr. Hamzah Ssebunya gw'ateekateeka okwanjula nga November 14, 2019.
 
Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, muwala wa Kenzo Maya Mirembe Musuuza yajaguzza emyaka munaana. Akabaga kaabadde ku Speke Apartments okumpi ne Africana.
 
Omwana ono yali abeera ne Rema kyokka kati abeera ne nnyina Tracy Nabatanzi.
Nabatanzi ye yategese akabaga kyokka Rema naye yataddemu ssente.
 
Yagulidde omwana ebirabo ne kkeeke bye yagenze nabyo. Kkeeke ssatu ze zaasaliddwa okuli eyaguliddwa Nabatanzi, eya Rema n'eya Kenzo gye yaguze gye yasasudde obuteerevu mu kkampuni emu ezikola.
 enzo Kenzo

 

 
Ku kabaga kano, Kenzo yakubye essimu n'ayogera ne muwala we. Oluvannyuma yayogedde ne Rema ku "WhatsApp video call" era n'amwebaza okulabirira Maya.
"Rema weebale kwagala mwana waffe Maya. Genda mu maaso n'omutima ogwo kubanga Maya amanyi nti ggwe oli maama we." Kenzo bwe yamugambye.
 
Kenzo yeebazizza abaabaddewo ku kabaga okwabadde eyakazibwako erya ssenga w'abaana Evelyn Namulondo.
 
Rema yasoose kussa bubaka ku mukutu gwe ogwa facebook ng'ayozaayoza Maya okuweza emyaka omunaana n'agamba nti, "On this very day 8 years back a beautiful, intelligent and kind super model was born.
 
Maya Mirembe Musuuza. May Allah protect and guide you always. Love you. Happy birthday ka maama"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...