TOP

Bajjukidde obulamu bwa Ignatius K. Musaazi

Added 1st October 2019

Omugenzi Ignatius Kangave Musaazi eyatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekyasooka mu Uganda ekya Uganda National Congress (UNC).

 Omugenzi Ignatius Kangavve Musaazi

Omugenzi Ignatius Kangavve Musaazi

Bya Lawrence Kizito ne Catherine Lutwama

MINISITA w'Abavubuka Emizannyo n'Okwewumuzaamu e Mengo, Henry Ssekabembe Kiberu akalaatidde Abavubuka okukola ennyo okuyamba abalala, bave mu njogera ya "nfuniramu wa". 

Bino yabyogeredde ku mukolo ogw'okusabira omugenzi Ignatius Kangave Musaazi eyatandikawo ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasooka mu Uganda ekya Uganda National Congress (UNC). Okusaba kwabadde ku Lutikko e Namirembe eggulo nga September, 30th, 2019. 

"Nfuniramu wa atattanye eggwanga lyaffe, ekisse omwoyo gw'okulwanirira abantu abatalina bwogerero. Naye mukimanye nti obuluvu n'okwagala ennyo ebyenfuna byongera kubbika ggwanga lyaffe." Ssekabembe bwe yalabudde. 

 sekabembe Ssekabembe

 

Yawadde eky'okulabirako kya Musaazi gwe yagambye nti yalwanirira eddembe ly'Abaddugavu n'okwefuga kwa Uganda naye yafa si mugagga, naye nga musanyufu era olwebyo bye yakola erinnya lye kye liva lijjukirwa ennyo na buli kati.

Abazadde yabasabye okukuza abaana obulungi, n'agamba nti Musaazi ateekwa okuba nga yakuzibwa mu mpisa, yagunjulwa ate n'ateekebwateekebwa ekyamusobozesa okuvaamu omuntu ow'amaanyi.

Rev. Canon Benon Kityo nga Diini wa Lutikko y'e Namirembe yagambye nti Musaazi yali musajja alengerera ewala nga kino kyeyolekera mu lutalo lwe olw'okulwanirira omulimi owa wansi, ng'akizudde nti obulimi Uganda kwerina okutambulira.

Musaazi yafa mu 1990 era n'alangirirwa ng'omuzira.

 ev ityo mu byambalo sekabembe naba amire ya usaazi oluvannyuma lwokusaba Rev. Kityo (mu byambalo) Ssekabembe n'aba Famire ya Musaazi oluvannyuma lw'okusaba.

 

 

Musaazi y'aani? 

Ignatius Kangavve Musaazi: Ajjukirwa nga taata w'eggwanga olw'okulwanirira ennyo obwetwa­ze bw'eggwanga era ye mutandisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekyas­ooka mu ggwanga ekya Uganda National Congress.  

Musaazi yasi­bibwa emirundi 37 ng'alwanyisa Abazungu, kyokka n'atava ku mulamwa.

Omusika wa Musaazi, Edward Musaazi agamba nti, ku baana 11 Musaazi be yaleka wakyaliwo mukaaga kyokka nga tewali ali mu bya bufuzi.

Edward Musaazi yaliko ssentebe w'eggombolola y'e Na­kaseke ne Kaasang'ombe wakati wa 1993 okutuuka mu 2006 bwe yawummula.

Omulala Elizabeth Musaazi yavuganyaako ku kifo ky'omubaka wa Nakaseke mu palamenti mu 2011 n'awangulwa Rose Namayanja.

Erinnya Musaazi mu byobufuzi kirabika lizikiridde. Musaazi yaziikibwa Kololo ng'omuzira Omusika agamba nti tamanyi lwaki baganda be tebaagala kuyingira bya bu­fuzi.

Nnamwandu wa Musaazi, Rose Nansikombi yategeeza Bukedde Online gye buvuddeko nti tayagala wadde muzzukulu we okufumbirwa munnabyabufuzi byabonyaabobya nnyo famire.

 bamu ku beetabye mu kusaba kwokujjukira usaazi e amirembe Abamu ku beetabye mu kusaba kw'okujjukira Musaazi e Namirembe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...