TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uncle Money ne munne baleppuka na gwa kutta muntu mu butanwa

Uncle Money ne munne baleppuka na gwa kutta muntu mu butanwa

Added 1st October 2019

Kkooti ya Buganda Road olwa leero lw'etandika okuwulira omusango Munnabyamizaanyo era omuwagizi wa tiimu ya Uganda Cranes lukulwe, Jackson Ssewanyana amannyiddwa nga Uncle Money ogw'okutta omuntu mu butali bugenderevu.

 Uncle Money (ku ddyo) ne Ssennyonga (ku kkono) nga bali mu kaguli ka kkooti.

Uncle Money (ku ddyo) ne Ssennyonga (ku kkono) nga bali mu kaguli ka kkooti.

Bya Ruth Faith Nakanwagi

 

Kkooti ya Buganda Road olwa leero lw'etandika okuwulira omusango Munnabyamizaanyo era omuwagizi wa tiimu ya Uganda Cranes  lukulwe, Jackson Ssewanyana amannyiddwa nga Uncle  Money  ogw'okutta omuntu mu butali bugenderevu.

 

Uncle Money nga yamyuka ssentebe w'ekyalo kya Kasubi Zone 4, yasindikibwa e Luzira ne Benson Ssenyonga  ng'ono ye difensi w'ekyalo oluvannyuma lw'okuggulwako omusango gw'okutta Siraje Tumusiime mu butali bugenderevu.

 ncle oney nga bwabeera mu kisaawe ngawaga abawagizi Uncle Money nga bw'abeera mu kisaawe ng'awaga abawagizi.

 



 

 Tumusiime yattibwa nga August 16, 2019. Oluvannyuma lw'abatuuze okumuteebereza okuba omubbi nga bano baatwalira amateeka mu ngalo ne bamukuba amayinja nemiggo egyamuttirawo era ekyaddirira ye poliisi okukwata abakulembeze be yalumiriza nti bebaali bakuliddemu abantu okutwalira amateeka mu ngalo .

 

Olwa leero ababiri bano basimbiddwa  mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ya Buganda road, Ayo Miriam Okello nga yali mu mitambo gy'omusango guno kyokka kkooti eyimiriddemu okumala eddakiika 20 we tuwandiikidde eggulire lino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.