
EKIRAGIRO kya UPDF okuwera abantu ba bulijjo okwambala ebyambalo by'amagye n'obukoofiira obwefanaanyiriza enkoofiira z'abajaasi tekisanudde ba People Power bokka wabula n'abayimbi ku bangi ku bbo tebava mu byambalo bya kinnamagye.
Obadde okimanyi nti omugenzi Moze Radio baamuzika mu byambalo ebyefaananyiriza eby'amagye era nti n'abayimbi abassayo sanduuke ye mu ntaana baali bonna banekedde mu byambalo okukirako bannamagye?
Laba wano ebifananyi




Brig. Richard Karemire yategeezezza nti okussa mu nkola ekiragiro kino y'entikko y'enteekateeka ezaatandikibwa mu 1996 okulaba ng'abantu baabulijjo tebakozesa byefaananyiriza byambalo by'amagye okuli; yunifoomu, enkofiira n'enyota oba ebitiibwa bya bofiisa ba UPDF.