TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze engeri yiika ya Rosemary gy'ekuwa obukadde 6 mu myezi 6

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze engeri yiika ya Rosemary gy'ekuwa obukadde 6 mu myezi 6

Added 2nd October 2019

NGA bwe gwali omwaka oguwedde abaalima kalittunsi ow’ekyewuunyo owa Lemon mwafunamu era akyaliwo ate avaamu obuloosa obugoba ensiri n’amajaani g’oteeka ku caayi okulongoosa mu mubiri naddala ku balina sukaali n’abasannyalala.

 Rosemary nga bw’afaanana

Rosemary nga bw’afaanana

Ate n'abaalima Flax ne mukungula nammwe mwamuleeta ne tumugula. Nga bwe siggwa kukuzigirira, ate leero nkuleetedde akaddo ka Rosemary akatuddemu obugagga bwo.

Akaddo kano oyinza okukayita Rose - Maria, abantu abasinga mukamanyi nga kakulira ku ttaka erimyufu oba ery'eddungu kyokka tekaboola ttaka, abamu mukateeka ku caayi, abamu mu muceere ate abamu munonooza nti kazimba obwongo.

Kituufu kalimu ekirungo ekya ‘acetylcholine' ekiyamba okuzimba obwongo omuntu n'aba nga teyeerabira mangu okuziyiza endwadde nga ez'okwerabira eya ‘Alzheimer's' ne ‘dementia'.

Kyokka ka twogere ku kaddo kano nga nga bizinensi nti, mu nkuba eno n'ensangi zino ng'ebyobulimi bidobonkanye, ababbi n'ebiwuka ebirumba ebirime nga tosobola kulima kasooli n'otomufuuyira ate ng'eddagala lye tukozesa lyonoona ettaka.

Ffe we tuviiriddeyo okulaba nga tuyamba ku Bannayuganda okulima ebimera ebipya ebitabbibwa, ebitalwala ebiteetaaga bigimusa ne Rosemary mw'omutwalidde.

Rosemary wa byafaayo n'omuwandiisi w'engero n'ebitabo Shakespeare amwogerako nti, ayamba okujjukira era yamuyita ‘herb of remembrance'.

Noolwekyo abasomi baffe abagoberera emboozi z'omukenkufu olwaleero njagala twettanire bizinensi eno eya Rosemary mu ngeri ey'enjawulo kubanga ffe akatale tekatubulangako.

Mu nteekateeka ey'okugattako omutindo tuvuddeyo n'enkola nti omuntu bw'anaasimbanga yiika 10 eza Rosemary nga tumuwadde ekika ekivaamu akaloosa ak'amaanyi tugenda kumuwa ekyuma ekinaamuyambako okukamula era bw'anaaleetanga amakungula nga twebala mpola okutuusa ssente lwe zinaggwaayo olwo atandike okufuna amagoba.

Kyokka alima okukka wansi, tujja kumuguza ekyuma ekikamula ku kibanjampola.

Tutunuulidde yiika 10 kubanga twagala abantu abalima mu nnima ey'obuwangaazi si bano abanoonya emmere ya leero newankubadde nga nabo tubaaniriza naye eky'enjawulo ekiriwo bo ekyuma bajja kukyegulira.

Bwe tuba tutunuulidde ennima ya Rosemary ono tugenda kuteeka endokwa 1,000 mu yiika ekirungi taboola ttaka. Abalina erimyufu, ery'olunnyo, eririmu asidi omungi, ery'ekisenyi ery'olusozi wonna akulirawo ate taliibwa buwuka, tayonoona ttaka, teyeetaaga bigimusa, n'okumufuuyira kubanga talwala.

Bw'oteeka endokwa 1,000 mu yiika amabanga ne bw'oleka ffuuti emu akwata ate ekirungi takkiriza muddo kukulamu noolwekyo togenda kubeera awo ng'omukoola.

Oluvannyuma lw'emyezi mukaaga obeera okungula era bw'onoomala okukungula tujja kukuwa ekyuma ekimukamula era nga tukugamba nti bw'osimba yiika 10 nga ffe tukuwa ekyuma ekimukamula n'otuleetera amakungula go aga butto oba akaloosa ka Rosemary.

Yiika emu ejja kutuwa liita 20 era buli liita ey'akaloosa ka Rosemary tugigula emitwalo 30 ekitegeeza buli yiika ejja kukuwa obukadde mukaaga.

Bw'oba osimbye yiika 10 ojja kufuna obukadde 60 mu makungula agasooka, agookubiri obukadde 60 omwaka obukadde 120.

Abatamanyi kukozesa kyuma tujja kukolagana nabo tubayigirize bwe kikola ate n'otuguza, liita tugigula 30 kitegeeza liita 20 ofuna obukadde mukaaga mu yiika.

Akatale si kizibu kuba tulina amakolero agakola sabbuuni n'ebizigo aba masaagi, Sauna n'ensi yonna kuba nabadde ne mu Palamenti ya Amerika eya Agoa nga bansaba obuloosa buno.

Obuloosa buno tebwonooneka omuntu ayinza okwesiiga Rosemary mu kyenyi omutwe ne guwona, bugoba olusu, okubunaaza embwa zaabwe naddala Abazungu okugoba enkwa n'obusowera.

Abawalabu bakateeka mu masinzizo gaabwe ne mu muceere ate bw'oba omukungudde addamu n'aloka toddamu kusaasaanya ku ndokwa era osigala mu katale kuba asobola okuwangaala emyaka 10 n'okusingawo.

Bannayuganda muve mu kulowooleza mu kulima emmere yokka naye tugatteko ebirime nga bino. Wiiki ejja hhenda kukulaga emigaso gya Rosemary ku bulamu bwo.

Ebisinga awo tujja kubisanga mu musomo gwaffe ogwa Sundowner ogukomyewo tuddemu okuyiga bwe bagattako omutindo.

Tugenda kubeera ku Sharing e Nsambya. Mu musomo gwa The Great Sundowner 4' nga October 31, 2019.

Tujja kuyiga ebintu eby'enjawulo omuli Enkuuma yamatooke amawaate, okwekolera ebirungo by'enkoko n'okekkereza, enteekateeka yekitiko (Cumbucha), Ennima ya Lavender nokugattako omutindo, amamera gobulo abakola emmere yebisolo, okulunda ebiwuka ngemmere yebyennyanja nenkoko nebirala.

Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...