TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvuzi wa 'bodaboda' alumirizza Uncle Money okukuba omuntu n'afa

Omuvuzi wa 'bodaboda' alumirizza Uncle Money okukuba omuntu n'afa

Added 2nd October 2019

OMUVUZI wa bboodabbooda alumirizza Uncle Money (Jackson Ssewanyana) nga bwe yamulaba awalaawala omuvubuka mu musiri gwa lumonde gye baamusibira akandooya ne bamukuba ekyavaako okufa.

Abdallah Zaake Tumuhirwe avuga bbooda ku siteegi ya Munaku ye yabadde omujulizi asooka okulumiriza Uncle Money nga bwe yatta Siraje Tumusiime mu butanwa.

Uncle Money nga y'amyuka ssentebe wa Kasubi Zooni 4 avunaanibwa n'akulira ebyokwerinda mu zooni ye, Benson Ssenyonga.

Tumuhirwe yategeezezza omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Miriam Akello Ayo ali mu mitambo gy'omusango guno nti nga August 16, 2019 ku ssaawa 2:30 ez'ekiro bwe yali ku siteegi kw'akolera yalaba Uncle Money ng'akutte omugenzi Tumusiime amataayi.

Yagambye nti Uncle Money yamusaza ekkubo okuva ku Masiro ne badda ku ludda lw'e Namuhhoona n'amutwala okumpi ne wooteeri ya Royal ng'eno gye yasanga Ssenyonga n'ekibinja kye abaali bakutte emiggo ne waya z'amasannyalaze ne batandika okukuba Tumusiime.

Yannyonnyodde nti; Abantu baali bagoberera okulaba ogubadde naye Uncle Money n'alagira ffenna tukome awo. Wabula nze nnalemerako ne nsigala nga mbagoberera.

Omugenzi baamukubanga akaaba ng'agamba nti talina musango. Baayongera okumukuba, omugenzi yaggya ssente 270,000/- ze yalina mu nsawo n'azikwasa ssentebe Birungi era Uncle Money ye yasooka okuzibala.

Baamutwala mu musiri gwa lumonde gye baamusibira akandooya ne bongera okumukuba.

Omugenzi yabajuliza Imaam we n'abantu abalala naye nga tebamuwa mukisa kubannyonnyola era nalaba bongera okumukuba kwe kudduka mpite Imaama ajje amutaase naye twagenda okukomawo nga baamuggyeewo dda.

Tumuhirwe yagambye nti bagenda ku poliisi y'e Kasubi naye tebaamusangayo. Baddamu okumuwuliza nga wayise ennaku ssatu ng'omulambo gwe guli mu ggwanika e Mulago.

Tumusiime yali mutunzi wa ssimu ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero nga kigambibwa nti Uncle money yamukwata ng'amuteebereza okugula essimu enzibe.

Uncle Money akyakuumirwa mu kkomera e Luzira olw'okubulwa abamweyimirira era omusango gukyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...