TOP

Diamond Platnumz bamuzaalidde eddenzi

Added 2nd October 2019

Diamond Platnumz bamuzaalidde eddenzi: Awezezza abaana 4 mu bakazi 3 okuli Uganda, Tanzania ne Kenya

MUNINKINI w'omuyimbi Diamond Platnumz amuzaalidde eddenzi

Ono si mulala wabula mwanamuwala Tanasha Donna enzaalwa y'e Kenya.

Diamond olw'essanyu eringi Diamond asitudde omwana ne yeekubya naye ebifaananyi n'abissa ku mukutu gwe ogwa Instagram n'assaako obubaka nti "Happy Birthday to us" kuba naye leero lw'ajaguzza amazaalibwa ge

Abantu abamugoberera ku mukutu bakyamuyozaayoza.