TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti

KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti

Added 3rd October 2019

KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti ku basibe abaggalirwa ku misango gy’okutundira ebyamaguzi ku nguudo n’okutembeeya mu kibuga kyokka munnamateeka w’ekitongole yategeezezza nti tebavunaanyizibwa ku basibe abaasalirwa edda ebibonerezo.

Bakansala nga bateesa. Ayogera ye Moses Kataabu owa Kampala Central.

Bakansala nga bateesa. Ayogera ye Moses Kataabu owa Kampala Central.

Bya HANNINGTON NKALUBO
 
KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti ku basibe abaggalirwa ku misango gy'okutundira ebyamaguzi ku nguudo n'okutembeeya mu kibuga kyokka munnamateeka w'ekitongole yategeezezza nti tebavunaanyizibwa ku basibe abaasalirwa edda ebibonerezo.
 
Caleb Mugisha akulira bannamateeka mu KCCA yagambye nti abaasalirwa edda ebibonerezo bavunaanyizibwaako kkooti n'ekitongole ky'amakomera ekibalina, kyokka mu wiiki emu bagenda kuba emitendera gyonna bagikozeeko.
 
Bino babikkiriziganyizzaako mu lukiiko lwa KCCA olwatudde ku City Hall eggulo nga lwakubiriziddwa Loodi Meeya Erias Lukwago.
 
Lukwago yagambye nti azze ayogera ku kukwata abasuubuzi obubi n'okubakwatira ebweru w'amateeka kyokka ng'abaserikale tebawuliriza.
 
Okusooka yayombye nti lwaki Pulezidenti Museveni talabawo ofiisi ye ate nga y'akulira ekibuga kubanga ebiwandiiko byaweereza mu KCCA tebamuwaako kopi ne baziweerezza akola nga dayirekita Andrew Kitaka.
 
EBIRALA EBYATEEKEDDWAAKO
 
Olukiiko lwasambazze ebbaluwa y'omuyambi wa pulezidenti Lucy Nakyobe eyabadde eragira KCCA ebawe ekitundu ky'ettaka ly'abavubuka e Kansanga basomesezeewo abantu okukola emirimu egyenjawulo.
 
Olukiiko lwakiwakanyizza ne bategeeza nti ofiisi ya pulezidenti bw'eba erina byeyagala okukolera ku ttaka lya KCCA eteekwa kukolagana ne KCCA naye si kusaba ttaka ng'abaagala okulitwala.
 
Baategeezezza nti olukiiko olubadde lugaba olukusa lw'okulangira mu Kampala luyimirizibwe ensonga zikolebweko akakiiko akakola ku kutegekera Kampala.
 
Ne nnannyini kkampuni eyali evunaanyizibwa ku kipande ekyakuba abantu ku
katale e Wakaliga babavunaane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...