TOP

Basajja bannange muntaase omukazi anzita!

Added 4th October 2019

Mu ntaase, basajja bannange mu ntaase omukazi anzita… ebyo bye bigambo Joseph Kawuma bakira by’alaajana ng’omukazi Barbra Nakirya amuli bukiika ng’omwana anatta nnyina. Olwo nno bbo abasaakaanya nga bawoza koolabe, muyitirizza obufere!

 Nakirya ng'aggunda Kawuma agakonde agokumukumu.

Nakirya ng'aggunda Kawuma agakonde agokumukumu.

Bya Henry Nsubuga

Mu ntaase, basajja bannange mu ntaase omukazi anzita… ebyo bye bigambo Joseph Kawuma bakira by'alaajana ng'omukazi Barbra Nakirya amuli bukiika ng'omwana anatta nnyina. Olwo nno bbo abasaakaanya nga bawoza koolabe, muyitirizza obufere!

Nakirya omutuuze w'e Mukono yakutte Kawuma omutuuze w'e Lugazi gwe yabadde alumiriza okumufera ssente ze.

awuma abatuuze baamwambudde nga bwe bamulangira obufereKawuma abatuuze baamwambudde nga bwe bamulangira obufere.

 

Yagambye nti Kawuma n'omusajja omulala baamufeze nga bwe baabadde basudde ssente zaabwe olwo ne bamukaka okwaza ensawo ye ensimbi emitwalo 20 ze yabadde atwala ku ssomero ly'omwana ne bazibbamu ne badduka kyokka n'agoba Kawuma n'amukwata n'alyoka amugunjula mu nkola ya kizadde era alifa amunyumyako.

Nakirya yakutte Kawuma nga bw'amuyisaamu n'empi olwo abantu gye baavudde nabo ne bamwegattako ne bamukuba n'okumuyuliza amasuuti ge yabadde ayambadde ng'eno akola gumu gwakulaajana butamutta.

 awuma ngalaajanira basajja banne bamutaase naye nga wa Kawuma ng'alaajanira basajja banne bamutaase naye nga wa!

 

Bino byabadde mu kibuga ky'e Mukono wakati. Kawuma yakanze kwegayirira basajja banne bamutaase ku Nakirya eyabadde amufuukidde olukokobe nga buteerere.

Nga bamaze okumukuba atiriika n'omusaayi nga bamwambudde n'engoye zonna, ng'akkirizza n'okusasula ensimbi za Nakirya, Kawuma baamuwazeewaze ne bamutwala ku poliisi y'omu Ppaaka ya takisi e Mukono.

awuma agakonde agaamukubiddwa gaamunozeKawuma agakonde agaamukubiddwa gaamunoze.

 

Wabula abapoliisi eno baabakyomedde lwaki baabadde bamukubye okutuuka ku kutonnya omusaayi ne batamutwala butereevu ku poliisi era ne bagaana okuyingiza omusango ne babasaba beeyongereyo ku poliisi enkulu e Mukono emannyiddwa ng'ey'omu Kayembe.

Kyokka ye Kawuma yalabise nga yewuunya Nakirya mukazi kika ki alina amaanyi okukira n'abasajja ng'era osanga ssinga yabadde kakazikazi ebyo tebyandimutuseeko.

 Ekyatuuse ku Kawuma alikinyumizaako n'abaana.

 awuma ngatuusiddwa ku poliisi Kawuma ng'atuusiddwa ku poliisi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...