
Abatuuze nga bakuhhaanidde mu maka ga Dan Kyazze mwe baabookedde e Kitintale.
Kyazze yafudde ku ssaawa 7:00 ez'emisana era amawulire gano olwatuuse ku batuuze b'e Kitintale gye yali abeera, baalumbye amaka ga Ssaalongo Willy Mugalula agambibwa okwokya abantu bano ne bagakoona n'okwonoona ebintu ebibaddemu.
Ekikolwa kino Mugalula kigambibwa nti yakikola ku ssaawa 8:00 ez'ekiro mu kiro ekyakeesezza Olwokuna lwa wiiki ewedde nga Namutebi ne Kyazze beebase.
David Wasiye Ssentebe wa zooni eno, yategeezezza nti Mugalula bwe yamala okwokya banne, yeemulula n'adduka wabula baasobola okukolagana ne poliisi ne bamukwata nga yali mu muzigo gwe mwe yali asula.
Okumukwata, baalabira ku mazzi agaali gawunya petulooli ge yali ava okunaaba.
Namutebi yafa ku Lwakutaano lwa wiiki ewedde n'aziikibwa e Kyaggwe ng'ono yaleka abaana basatu okwali n'abalongo.
Rehema Namwasi yategeezezza nti ekikolwa kino, Mugalula yakikola n'obugenderevu kubanga yasooka kusibira abantu bano mu nnyumba n'alyoka akuma ku nnyumba omuliro ne bajjiramu.
Ayongerako nti, Namutebi bwe yafa, baasalawo ng'abatuuze okwesondamu ssente basobole okutaasa obulamu bwa Kyazze ekitaasobose.
Wano w'asabidde abazira kisa okuyamba abaana be baalese. Isma Senyonga, muliraanwa wa Kyazze yategeezezza nti, Kyazze yali talina mukazi era nga takwana wabula abantu bano okwagalana kyava ku Kyazze okusuza Namutebi bwe yali anobye ewa Mugalula.
Kyazze ne Namutebi babadde baakamala emyezi esatu nga baagalana era Mugalula okwokya abantu bano yasooka kubeewerera era Namutebi n'awaaba omusango ku poliisi y'e Kitintale okusinziira ku Senyonga .
John Kabali taata wa Mugalula yategeezezza nti mutabani we yamutema bwe yali ayagala okumugoba ku nnyumba ze kyokka n'atya nti singa amugoba ayinza okukomawo n'amutuusaako obulabe wabula n'anenya batuuze banne okwonoona amayumba ge.