TOP

Omusajja atemye mukazi we n'adduka

Added 5th October 2019

ETTEMU!, omusajja Denis Byaruhanga mu Kinaawa atemye mukyala we ejjambiya mu bulago n’amuleka ng’ataawa, ate omukazi mu Ndeeba n’afumita bba ekiso ekimuttiddewo.

 Ennyumba Byaruhanga mwe yatemulidde mukyala we mu bifaananyi be baana baabwe. Kiconco eyatemeddwa bba.

Ennyumba Byaruhanga mwe yatemulidde mukyala we mu bifaananyi be baana baabwe. Kiconco eyatemeddwa bba.

Byaruhanga nga tannakola kino, mukazi we, Peace Kiconco 26, yasoose kumuwambako ssimu ekika kya Tecno n'agitunda ekyatabudde mukazi we n'atandika olutalo ne bayomba olwo omusajja n'atambula n'ava awaka n'agenda.

Omusajja olwakomyewo omukazi n'attukiza oluyombo nga bw'amulangira okutunda essimu ye kyokka ne bakkakkana ne beebaka.

Ku ssaawa nga 9:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokuna, Phiona Kobusingye, muganda wa Kiconco yagenze okuwulira ng'emiranga gifubutuka mu buliri mukulu we gye yabadde yeebase ne bba.

Olwataddeko ettaala okwetegereza nga Kiconco agudde mu kitaba ky'omusaayi.

Wabbali nga waliwo ejjambiya ebunye omusaayi n'oluggi nga luggule, wano yatandikiddewo okulaya enduulu eyasisimudde baliraanwa ne bajja okubadduukirira.

Bino byabadde Kinaawa Cell mu Kyengera twawuni kkanso era nnannyini nnyumba kwe bapangisa, Lydia Nassiwa y'eyayise poliisi n'etwala Kiconco e Mulago.

Nassiwa yategeezezza nti abantu bano babadde baakamala ku nnyumba ze ennaku ssatu naye ng'abadde talina ky'abamanyiiko okuggyako okumanya nti baava mu bitundu by'e Nateete. Nassiwa agamba nti abadduukirize we bajjidde, Byaruhanga yabadde amaze okudduka. Byaruhanga abadde asiika bbagiya awo mu Kinaawa ate Kiconco atembeeya kkeeki mu Kampala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yakakasiza ettemu lino n'ategeeza nti batandikiddewo omuyiggo ku Byaruhanga nga bw'anaakwatibwa waakuggulwako omusango gw'okugezaako okutta omuntu.

Abafumbo bano balina abaana bana. Omukazi asse bba mu ndeeba Norah Dabegeire owa zzooni ya ‘Spire' mu Ndeeba okuliraana ennyanja ya Kabaka, yasozze bba, Bob Matovu akambe mu kifuba ekyamuviiriddeko okufa.

Entabwe we yavudde ye Matovu okuva awaka nga taleseewo ssente za kugula mmere kyokka yagenze okudda eka nga bafumbye omuceere n'ennyama, teyabuuzizza bingi n'akwata essowaani yeegabire ku mmere.

Kino kyaggye Dabegeire mu mbeera n'abuuka we yabadde atudde ku lubalaza n'akwata akambe k'awaatisa emmere n'akafumita bba mu kifuba emirundu esatu okusinziira ku Assy Arinaitwe eyabaddewo.

Matovu baamuyoddeyodde olwo Aloysious Mukasa n'aleeta mmotoka ne bamutwala mu ddwaaliro e Lubaga gye yafiiridde nga baakamutuusa. Matovu ne Dabegeire baabaddewo n'omwana omu nga mulenzi. Omukazi abatuuze baamukutte ne bamukwasa poliisi y'omu kitundu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Dabegeire bamugguddeko gwa butemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...