TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bujjingo alumbye Ssennyonga mu kusaba e Namboole: 'Oyo Ssennyonga tansobola'

Bujjingo alumbye Ssennyonga mu kusaba e Namboole: 'Oyo Ssennyonga tansobola'

Added 5th October 2019

Tugenda kufuna Olwokutaano olulala ate tusigale nga tuli ba maanyi ddala, kino nja kukyogera kuba bulijjo nzize nkibagamba nti omuntu bw’akusinga obuwanvu nga musitamye ate tosiba nsimbi zo nti osobola okumusinga obuwanvu nga mwenna muyimiridde; Oyo Senyonga tansobola.

 Omusumba Simeon Kayiwa ne mukyala we Dr. Celia Kayiwa (ku ddyo), bazadde ba Bugingo okuli nnyina Jane ne kitaawe Aloysius Bugingo nga basabira Paasita Bugingo e Namboole.

Omusumba Simeon Kayiwa ne mukyala we Dr. Celia Kayiwa (ku ddyo), bazadde ba Bugingo okuli nnyina Jane ne kitaawe Aloysius Bugingo nga basabira Paasita Bugingo e Namboole.

Mu kusaba kuno, Bugingo yalumbye musumba munne Jackson Senyonga owa Christian Life Church e Bwaise eyategese okusaba okw'ekika kyekimu e Namboole wiiki ewedde ne kwetabwamu ne Pulezidenti Museveni.

Abantu abeetabye mu kusaba kwa Bugingo baabadde bangi okusinga abeetabye mu kwa Senyonga era Bugingo awo we yasinzidde n'agamba nti:

Mukimanyi bulungi nti Olwokutaano olusooka mu mwezi gwa October waliwo eyalututte naye tugenda kusabuukulula olulala era leero sidda waka nga sirabye baddukanya kisaawe kya Namboole okuggyako nga mmaze okubalaba ne tukkaanya.

Tugenda kufuna Olwokutaano olulala ate tusigale nga tuli ba maanyi ddala, kino nja kukyogera kuba bulijjo nzize nkibagamba nti omuntu bw'akusinga obuwanvu nga musitamye ate tosiba nsimbi zo nti osobola okumusinga obuwanvu nga mwenna muyimiridde; Oyo Senyonga tansobola.

Yayongeddeko n'agamba nti: Obuggya kibi, baganda ba Yusufu baamutunda mu buddu ne basigaza emitwe gyabwe naye n'agenda n'ogugwe era olw'okuba yalina okwolesebwa yasigala abasinga.

Yeebazizza Kayiwa olw'okumubeererawo n'okumulambika mu by'okusoma n'atuuka okutikkirwa mu by'eddiini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...