TOP

Bujjingo ayanjudde Suzan mu bakadde be

Added 5th October 2019

Wadde Suzan Makula teyayanjuddwa ku katuuti, ensonda zaategeezezza nti Bugingo yamukulembeddemu n’amutwala mu bazadde abazaala Bugingo okuli nnyina Jane Bugingo ne kitaawe nga naye ye Aloysius Bugingo.

  Mwannyina wa Bugingo ng’atuuka ne Suzan Makula (ku ddyo).

Mwannyina wa Bugingo ng’atuuka ne Suzan Makula (ku ddyo).

Yabasisinkanidde mu bisenge ebyategekeddwa e Namboole okwaniririzaamu abantu ab'enjawulo naddala abakungu era omu ku baabaddeyo yategeezezza nti abazadde baasanyukidde Suzan ne bamwaniriza mu famire.

Mu kujja mu kisaawe awaabadde okusaba, Suzan yajjidde wamu ne bazadde ba Bugingo ne bannyina ba Bugingo (Bamulamu) era obwedda bazinira wamu ku nnyimba z'eddiini ezaabadde ziyimbibwa mu kusaba okwajjumbiddwa.

Abantu baabadde bangi mu kisaawe wadde omuwendo gwesaze bw'ogeraageranya n'omuwendo ogwetaba mu kusaba kw'omwaka oguwedde era abamu ku bagoberezi baategeezezza nti amabanga amatonotono agaabadde mu kisaawe ku mulundi guno gandiba nga gaavudde ku muyaga ogubadde mu kkanisa ku by'obufumbo bwa Bugingo ne Teddy.

Omwaka oguwedde, Teddy ne Bugingo baali ku katuuti kamu nga babuulira enjiri e Namboole.

Bugingo ng'alinnye akatuuti, yayanjulidde abantu bazadde be (maama ne taata) era abantu ne babakubira emizira.

Bazadde ba Bugingo babeera Rwanda kyokka Bugingo baamuzaalira Masaka gye baali babeera wabula baamuleka muto ne baddayo e Rwanda.

Taata wa Bugingo yayogeddeko eri abantu n'abategeeza nti Bugingo Munnayuganda bwoya kubanga baamuzaalira mu ddwaaliro e Masaka nga July 28, 1970 era mu kiseera kino wa myaka 49.

Bugingo alina abaana 4 ne Teddy okuli omukulu Doreen Bugingo ow'emyaka 28.

Bugingo ne Teddy baali bamaze emyaka 29 mu bufumbo wabula ne batabuka era Bugingo n'ava mu maka e Kajjansi n'agalekamu Teddy n'abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...