
Engeri Bobi Wine gye yatadde abadigize ku bunkenke mu kivvulu kya Maddoxx ku Sheraton Hotel mu Kampala ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Bwe yalinnye ku siteegi nga tebategedde wakati mu kusattira ne baggyako ebyuma.



Bobi yabadde omu ku bantu abangi abeeyiye mu kivvulu kya Maddox ekyabadde mu bimuli bya wooteeri ya Sheraton okumuwagira.
Yazze obudde bugenze era yatuukidde mu VIP gye yasoose okutuula ne Nubian Lee wamu ne mwannyina mukyala wa Maddoxx.




Bakira buli luyimba Maddox lw'asulamu nga Bobi ne banne basituka okuzina kyokka Maddoxx olwalangiridde nti "kambayimbiremu olusemba tuve wano", Bobi Wine ne banne ne boolekera siteegi era ono abategesi bamwekangidde waggulu.
Ye Maddoxx eyabadde omusanyufu okumulabako yamugudde mu kifuba n'amukuba akaama n'oluvannyuma n'amuwa akazindaalo kyokka ab'ebyuma baamukoze akakodyo ne baggyako eddoboozi ly'akazindaalo.



Mu kiseera kino Bobi ku siteegi yabadde ne Nubian Lee, Omulangira Ssuuna ne Henry Tigan nga bayimba oluyimba lwa Maddoxx olwa Namagembe kyokka ng'ebigambo bya Bobi tebyatuuka Maddox kwe kumuwa akazindaalo akalala. Ab'ebyuma baalabye embeera etabuse kwe kuggyako ebyuma.
Amangu ddala ng'ekivvulu kiwedde abategesi baalabiddwaako mu kafubo nga beewuunaganya.


Abamu baabadde beebuuza eyamuleese ku siteegi okubaleetera ebizibu ate abalala nga bwe bamuwolereza nti kati awo akoze kibi ki ate abalala nti tetumanyi ky'abadde agenda kwogera ate abeebyokwerinda nti baamugaana ku siteegi ng'alina kusooka kufuna lukusa.
Ye Maddoxx Ssematimba yakubye omuziki n'akakasa abantu nti akyali wa mutawaana. Yabakubye emiziki egy'okumukumu egyabafuukudde ne basituka ne bazina nga bwe bamukubira emizira n'okumuwaana nti ddala ‘Legend' nga bwe yeeyita.
Ekivvulu kino kyetabiddwaako n'akulira Vision Group, Robert Kabushenga. Vision Group yataddemu ssente.