TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw'Eklesia

Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw'Eklesia

Added 6th October 2019

MUNNAYUGANDA George Balinnya yayawuliddwa okufuuka Dikoni oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo mu by’enzikiriza mu Aristotle University mu kibuga Thessaloniki e Buyonaani.

 Dikoni George Balinnya ( ku ddyo) nga yaakayawulibwa ku kitiibwa kino. Ku kkono ye, Viika wa Klesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa naye eyeetabye ku mukolo guno.

Dikoni George Balinnya ( ku ddyo) nga yaakayawulibwa ku kitiibwa kino. Ku kkono ye, Viika wa Klesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa naye eyeetabye ku mukolo guno.

Omukolo ogw'okumwawula gwabaddewo nga August 25, 2019 mu Klesia y'omutukuvu Fotios mu kibuga Thessaloniki nga gwakolebwa Bp. Anthimos ow'ekibuga Thessaloniki ne Bp. Stephanos owa Kabala, Filipon ne Thasos nga bano bamwebaza olw'okwewaayo okumaliriza emisomo n'okwagala Katonda.

Yasabiddwa okwagala Katonda kubanga y'ensibuko, okwekwata abatukuvu ba Klesia okusingira ddala nnyina Katonda Maria era n'okukola n'amaanyi okunyinyitiza obuminsani mu Uganda ng'asaasaanya enjiri y'Obusodokisi.

Ono yasooka kusoma busomesa bw'okubala ne Physics ku yunivasite e Ndejje wano mu Uganda kw'agasse ddiguli eyookubiri mu by'eddiini ekintu kye yagambye nti, kigenda kumuyamba mu buweereza bwe.

Omukolo guno gwetabwako ne Viika w'Eklesia y'Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa ng'ono yategeeza nga kino bwe kyongedde amaanyi mu mirimu gya Klesia mu Uganda era n'amusaba okubeera ekyokulabirako.

Obudikoni ly'eddaala erisooka mu bwawule bw'Eklesia nga liddirirwa Obufaaza ng'erisembayo mu kwawulibwa lya Bisopu olwo ebitiibwa ebirala ebiddako bubeera buvunaanyizibwa obukolebwa oyo abeera abuweereddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...