TOP

Bakoze ekikwekweto ku mmotoka ez'ebbeeyi

Added 6th October 2019

EKITONGOLE ky’omusolo ekya URA kikoze ekikwekweto ku mmotoka ez’ebbeeyi okuli n’eziriko nnamba z’amawanga ag’omuliraano eziri mu ggwanga mu bukyamu.

 Ezimu ku mmotoka ezaakwatiddwa.

Ezimu ku mmotoka ezaakwatiddwa.

Mmotoka zino ezisukka mu 50 okusinga ziri mu bika bya Range Rover Vogue ne Sport eziriko nnamba z'amawanga ag'ebweru nga layisinsi ezizikkiriza okutambulira ku nguudo za Uganda zaggwaako ate ng'endala ziteeberezebwa okuba nga zabbibwa mu Bungereza.

Vincent Seruma, omwogezi wa URA yategeezezza nti waliwo n'emmotoka eziriko nnamba emmyuufu nga zino za Bannayuganda ababa baakomawo okuva wabweru w'eggwanga nga babadde nazo okumala ebbanga erisukka mu mwaka nga teziweerwanga musolo zaakwatiddwa kuba abamu babadde bazitunda nga tebamaze kutemya ku URA.

Mmotoka bwe ziva mu mannya gaabo abaazireeta ziba zirina okwanjulibwa mu URA ne zigerekerwa omusolo okusinziira ku mbeera gye ziba zirimu oluvannyuma ne ziweebwa nnamba ppuleeti ezaabulijjo.

Agnes Nabwire akulira ebikwekweto ebifuuza ababbirira omusolo mu URA yagambye nti ezimu ku mmotoka zino bannannyini zo balina okulaga obukakafu nti zaabwe era bwe kinaabalema zaakutundibwa ku nnyondo n'endala zizzibweyo mu mawanga gye ziteeberezebwa okuba nga gye zabbibwa.

Mmotoka okuli nnamba ppuleeti ez'amawanga ag'omuliraano agali mu mukago gw'Obuvanjuba bw'Africa (East African Community) nga bannannyini zo balina okuzizzaayo, ziweebwa ekiseera kya myezi esatu okubeera mu Uganda.

Buli mmotoka ebeera erina okusasula omusolo ogw'okweyambisa enguudo za Uganda gwa ddoola z'Amerika 20 buli mwezi ng'emyezi esatu bwe giggwaako, nnannyini yo alina okuziweera omusolo ne zissibwako nnamba puleeti za wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?