TOP

Bamukutte ku by'okulumika essimu z'abanene

Added 6th October 2019

AMAGYE gakutte omusajja agambibwa nti abadde yeeyambisa tekinologiya ow’omulembe n’alumika amasimu g’abanene mu gavumenti. Eyakwatiddwa ye Baker Ssennabulya.

 Ssennabulya gwe baakutte.

Ssennabulya gwe baakutte.

Yaggyiddwa mu dduuka lye mu akeedi ya Temuseewo Mpoza mw'atundira amasimu.

Abaserikale okukwata Ssennabulya, bamaze ebbanga nga bamulondoola oluvannyuma lw'okumufunako amawulire nti alumika amasimu g'abanene mu gavumenti omuli baminisita n'abeebyokwerinda n'afuna ebyama.

Abeebyokwerinda baagala ababuulire gw'akolera ne b'akolagana nabo gattako ekigendererwa kyabwe.

We baakwatidde Ssennabulya nga waliwo baminisita basatu abaakavaayo ne bategeeza bwe waliwo ababalondoola.

Mu bano kuliko Idah Nantaba minisita wa ICT, Evelyne Anite minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bamusigansimbi ne David Bahati minisita omubeezi oweebyensimbi.

Ensonda z'ebyokwerinda zaategeezezza nti omusajja ono baamusanze ne kompyuta (laptop) kwe yassa tekinologiya ow'omulembe gy'akozesa okulumika amasimu. Ennamba z'amasimu g'ayagala okulumika, azissa mu kompyuta ye olwo n'afuna buli ekigoogererwako n'obubaka obuliko.

Olumu abaddenga asemberera ebifo by'ebyokwerinda okugeza ebitebe bya poliisi n'alumika byonna ebyogerwa.

OKUKWATIBWA KWA SSENNABULYA

Mukyala wa Ssennabulya, Shamim Namuddu, agamba nti teyasooka kumanya nti bba akwatiddwa.

Yalaba butadda waka ku lwa August 9, 2019. Oluvannyuma lw'okulinda ebbanga nga tadda, yali awo bba n'amukubiura essimu n'amutegeexza nti bamukutte.

Waayitawo akaseera katono n'afuna essimu endala okuva eri ssentebe w'ekibiina ekigatta abatunzi b'amasimu mu Kampala, Yassin Bulunda eyamutegeeza ekintu kye kimu nti Ssennabulya bamukutte kyokka abaali bamukutte tebannabategeera.

"Nategeeza aba ffamire ebyali bituuse ku baze ne banneegattako okugenda ne tusisinkana ssentebe Bulunda, eyatukulemberamu ne tugenda ku poliisi y'oku CPS," Namuddu bwe yannyonnyodde.

Agamba nti waliwo eyabawa amagezi okugendako ku kitebe kya poliisi ekya SID e Kireka, kyokka bwe baatuukayo, akikulira SCP Elly Owomanya, yanoonya mu biwandiiko byonna ne mu kkomera ng'omuntu waabwe taliimu olwo amaanyi ne gabaggwaamu.

Namuddu yategeezezza nti eyo nga bavuddeyo, beeyongerayo ku kitebe ky'ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO e Nakasero kyokka nga nayo taliiyo.

Eno beewuubayo emirundi nga musanvu nga baagala okukakasa ekituufu naye nga babagamba kimu nti omuntu waabwe si be bamulina.

Moses Mukasa Kyeyune, omu ku baffamire yategeezezza nti bali mu bweraliikirivu. "Twagenda ne ku ofi isi z'ekitongole ky'amagye ekya CMI e Mbuya, kyokka eno bwe twatuuka ku ggeeti ne batugaana okuyingira munda, era ne tuvaayo ng'ekituufu tetukifunye," Mukasa bw'agamba.

Yayongeddeko nti omuntu waabwe bw'aba alina omusango gwe yazza baagala n'ekyo bakitegeera emitima gibakke kuba bo, kye baagala kwe kumanya waali, abamulina, n'ensonga lwaki.

POLIISI EYOGEDDE

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, ASP Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti Ssennabulya, yakwatibwa magye, nti kyokka ensonga eyamukwasa y'amaanyi era anoonyerezebwako.

"Ekituufu Ssennabulya, teyawambibwa naye waliwo ab'ekitongole ky'amagye ekimu abaamukwata ku misango egyekuusa ku masimu, wabula si ffe tumulina," Owoyesigyire, bwe yategeezezza.

SI FFE TUMULINA - SFC

Omwogezi w'ekitongole ekikuuma Pulezidenti ekya Special Force Command (SFC) Denis Omara, era nga kye kimu ku ebyo ebisongeddwaamu olunwe okuba nga baliko kye bamanyi ku mayitire g'omuntu waabwe, yagambye nti si be bamulina.

SSENTEBE W'ABATUNDA AMASIMU KY'AGAMBA

Ssentebe w'ekibiina ekigatta abatunda amasimu mu Kampala ekya ‘Uganda Phone Traders' Association' Yassin Bulunda, agamba nti yafuna amawulire nti mmemba waabwe ayitibwa Junior ye yasooka okukwatibwa era ye yalonkooma Ssennabulya.

Ono naye oluvannyuma yalonkooma omulala Brian Wasswa, gwe baggya ku Arua Park. "Waliwo ofi isa ku CPS, ASP Baboineki namutuukirira n'aηηamba nti ensonga eyakwasa Ssennabulya, yeekuusa ku by'amasimu nti era abaserikale b'ekitongole kya SFC ekikuuma Pulezidenti, be baali bamulina," ssentebe bwe yagambye.

Omwogezi w'amagye Brig. Richard Karemire, yategeezezza nti ensonga zino agezaako okuzirondoola era oluvannyuma ajja kuvaayo ategeeze eggwanga ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...