TOP

Omuliro gukutte ekizimbe kya Jesco mu Kampala

Added 7th October 2019

NABBAMBULA w'omuliro akutte saluuni n’edduuka ly’ebyokunywa ku kizimbe kya Jesco Beauty Center mu Kampala ebintu bya bukadde ne bisaanawo.

Emmotoka ezikiriza omuliro ng'etuuse.

Emmotoka ezikiriza omuliro ng'etuuse.

Bya LAWRENCE MUKASA

NABBAMBULA w'omuliro akutte saluuni n'edduuka ly'ebyokunywa ku kizimbe kya Jesco Beauty Center mu Kampala ebintu bya bukadde ne bisaanawo. 

Omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro ekikeesezza leero Mande nga guteeberezebwa okuba nga gwavudde ku masannyalaze agekyanze oluvanyuma lwa banannyini dduuka okulekako firiigi.

 

Edduuka eryakutte omuliri libadde liyitibwa Kabiswa Excutive Barber Salon era nga nannyini lyo ategeerekeseeko erya Kabiswa yali yapangisaako munne ng'atunda bya kunywa era ng'ono yeyaleseeko firigi egambibwa okuvaako omuliro guno. 

 kizimbe kya esco Ekizimbe kya Jesco.

 

Poliisi yabazinyamooto ng'ekulembeddwamu aduumira poliisi yabazikiriza omuliro n'okutaasa abali mu buzibu eyitibwa eya Fire and Rescue Service mu Kampala, Bernad Ssembuusi yatuuse mu kitundu kino kyokka n'esooka eremesebwa abaserikale abakuuma ekizimbe kino nga batya nti abadduukirize okuyingira ekizimbe ne batandiika okubba ebintu by'abasuubuzi. 

 

Oluvanyuma poliisi yabasinzizza amaanyi n'eyingira ku mpaka kyokka n'esanga akaseera akazibu okuyingira edduuka olw'okuba nti eziji ku kizimbe kino zonna za kyu

 

ma.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....