
Ennyonyi endala 2 zitonnye ku kisaawe e Ntebe: Libadde ssanyu jjereere
Ennyonyi zino ekika kya Bombadier CRJ 900 zituusiddwa ku kisaawe e Ntebe. Kati tuwezezza ennyonyi 4.
Ennyonnyi zitonnye ku kisaawe e Ntebe leero ku Mmande era kati Uganda ewezezza ennyonyi ez'ekika kino nnya.
Ennyonyi zino zaagulwa mu kkampuni ya Bombadier esangibwa e Canada era kino kigenda kuyamba kkampuni eno okwongera okutuuka mu bibuga by'amawanga ga Afrika ebitali bimu.
Minisita w'eggwanga ow'ebyentambula ye yayanirizza ennyonyi zino n'azirambula.Era Uganda esuubira okweyambisa ennyonnyi zino okwongera okutumbula ebyobulambuzi n'ebyensubulagana naddala mu by'amafuta aganatera okusimwa.
Kkampuni y'ennyonyi ya Uganda Airlines yatandikibwawo eyali Pulezidenti wa Uganda nguli Idi Amin Dada mu 1976 kyokka mu 2001 kkampuni eno n'egwa.
Mu August 2019 , Uganda Airlines yabuusa ennyonnyi yayo ku lugendo olusooka bwe yava e Ntebe n'egenda e Nairobi.
Era okuva olwo ennyonnyi zaatandise okusaabaza abantu okugenda mu bibuga ebiwerako mu Afrika.




