TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno muwogo awuniikirizza ekyalo olw'obuwanvu bwe

Wuuno muwogo awuniikirizza ekyalo olw'obuwanvu bwe

Added 7th October 2019

Mula yagambye nti kino abadde takirabangako ku myaka 35 gyalina.

 Abasajja mukaaga nga basitudde omuwogo ogwawuniikirizza ekyalo.

Abasajja mukaaga nga basitudde omuwogo ogwawuniikirizza ekyalo.

Bya Wasswa B. Ssentongo

Abatuuze ku kyalo Nanya e Bombo mu Ggombolola y'e Nnyimbwa mu disitulikiti y'e Luwero balabye muwogo abawuniikirizza. Abadde aweza obuwanvu bwa fuuti mwenda.

Bino bibadde mu maka ga Abdu-Abdallah Mula nga mulimi mu kitundu kino. Mula yakedde kugenda mu nnimiro ye okusima muwogo owokulya ekyemisana kyokka bwatuuseeyo yaggukidde ku kikolo kino kwe yasimye omuwogo nga teguggwaayo.

 muwogo ogwebyewuunyo ogusobola okuliisa abantu 10 nomusobyo Omuwogo o'gw'ebyewuunyo ogusobola okuliisa abantu 10 n'omusobyo.

 

Mula yagambye nti kino abadde takirabangako ku myaka 35 gyalina. Yategeezezza nti omuti yagujja ku lusalosalo lwa muliraanwa we naye naagusimba.

Abatuuze baagambye nti kino babadde tebakirabangako nga babiwulira mu bifo birala era ne bakuutira abatuuze okwettanira emiti gino era abatuuze bagyigabanye buli omu asobole okwesimbira ku muwogo ono ow'embala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...