TOP

Bugingo ayogedde bwe yakoze 'loosi' e Namboole

Added 7th October 2019

PAASITA Bugingo ayanjudde bye yaggye e Namboole, n’ategeeza abagoberezi nti yasigadde abanjibwa ensimbi ezisukka mu bukadde 60 okusinziira kw’ezo ze yataddemu ng’ategeka olukungaana olwabaddewo ku Lwokutaano.

 Bujingo, Makula, ne bazadde ba Bujingo.

Bujingo, Makula, ne bazadde ba Bujingo.

Bya PATRICK KIBIRANGO
 
PAASITA Bugingo ayanjudde bye yaggye e Namboole, n'ategeeza abagoberezi nti yasigadde abanjibwa ensimbi ezisukka mu bukadde 60 okusinziira kw'ezo ze yataddemu ng'ategeka olukungaana olwabaddewo ku Lwokutaano.
 
Aloysius Bugingo nga bw'eri enkola ye ey'okulangirira ensimbi ezibeera zikunganyiziddwa mu nkungaana z'aba ategese, yakoze ky'ekimu eggulo n'alangirira nga bwe yasoloozezza obukadde 135.
 
Ku mulundi guno, ssente zeesaze nnyo n'atatuuka wadde mu makkati g'ezo ze yasolooza omwaka oguwedde!
 
Omwaka oguwedde, Bugingo yalangirira nga bwe yali asoloozezza obukadde 300 mu kusaba okwali e Namboole nga October 5, 2018.
 ujingo ngasaba antaba okukkiriza okumuwasa Bujingo ng'asaba Nantaba okukkiriza okumuwasa.

 

 
Mu kusaba okwabaddewo eggulo mu Kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere Kavule, Bugingo yasoose kusabira bantu nga byonna biragibwa butereevu ku Ttivvi ye (Salt TV) ne ku Leediyo (Salt FM), wabula bwe yatuuse okulangirira ebyavudde e Namboole, n'alagira abakozi baggyeko TV ne leediyo baddeyo mu mpeereza yaabwe eya bulijjo.
 
Awo we yatandikidde okwanjula ensimbi ezaasoloozeddwa nga ziri mu miteeko ebiri:
 
Ezaavudde mu birabo (Ekirabo) zaabadde 78,803,400/- ate ez'okuzimba Ekkanisa empya gye yatuuma Pentagon ziri 56,264,000/- olwo zonna awamu ne zibeera 135,067,400/-.
 
Ssente zino zeesaze mu buli muteeko; okugeza ku birabo omwaka oguwedde zaali 111,209,200/- nga ku luno zino zeesazeeko obukadde obusukka mu 30 ate ez'okuzimba Ekkanisa ya Pentagon zeesaze okuva ku 108,893,100/- ne zidda ku bukadde 56 bwokka.
 
Omuwendo gw'abantu abeetabye mu kusaba nagwo gwesaze era ebitundu ebimu mu kisaawe byabaddemu amabanga ate omwaka oguwedde nga kyakubako.
 
Kino abamu baakitadde ku muyaga oguli mu Kkanisa ye nga guva ku bufumbo bwa Bugingo obwayingiramu omuwala Suzan Makula ng'ono kati y'ateetera ne Bugingo oluvannyuma lw'okusuulawo mukazi we ow'empeta Teddy Naluswa Bugingo gw'alinamu abaana abana okuli n'ow'emyaka etaano.
 
 nju ujingo gyazimbidde akula e akiso Enju Bujingo gyazimbidde Makula e Wakiso

 

Omwaka oguwedde, e Namboole Bugingo yaliyo ne Teddy era baali ku katuuti kamu nga babuulira, wabula ku Lwokutaano oluwedde, Bugingo yabaddeyo ne Suzan era waabaddewo entegeka ez'okumwanjula eri abantu kyokka ne zikyusibwa ku ssaawa esembayo nga Bugingo bamulaze akabi akali mu kugenda mu maaso n'entegeka eyo.
 
Bugingo bwe yasazizzaamu entegeka eyo, olwo kwe kusalawo atwale Suzan amwanjulire bazadde be, be yabadde atumizza okuva e Rwanda.
 
Yatutte Suzan mu kisenge eky'enjawulo ekyabadde kitegekeddwa okusisinkaniramu abantu ab'enkizo e Namboole nga tannatandika kusabisa era n'abanjulira Suzan Makula Nantaba ng'omukazi gwe yafuna oluvannyuma lw'okulemagana ne Teddy obwedda gw'ayogerako nga "Maama w'abaana".
 
Okuva omuyaga gw'obufumbo lwe gwatandika, ssente Bugingo z'asolooza zeesala kubanga gwaggyayo n'ebyama abagoberezi bye baali tebamanyi okuli n'ennyumba amatiribona Bugingo gye yazimba e Wakiso mu nkukutu, abagoberezi gye baagamba nti nayo yali efuuse "Pentagon" yaakubiri nga bateebereza nti ze basonda okuzimba Ekkanisa empya bave mu weema, ate zidda ku nnyumba Bugingo gy'azimbira omugole Suzan!
 
Ssente z'okuzimba Ekkanisa ku luno okwesala ennyo bwe kityo, abamu baakitadde ku bye baazuula nti abadde azikozesa kwegaggawaza n'omukazi omupya gwe yafuna; n'aleka Teddy mu maziga nga n'okufuna eza ‘fiizi' z'abaana amala kukuba mulanga ewa Minisita ne Sipiika wa Palamenti.
 
 ujingo ne ukyala we eddy mu kusaba kwa ndependence ight omwaka oguwedde 2018 Bujingo ne Mukyala we Teddy mu kusaba kwa Independence Night omwaka oguwedde 2018.

 

Bugingo mu kusaba eggulo yagambye nti baakozesezza obukadde 140 okutegeka olukung'aana wabula ez'okuzimba Ekkanisa empya nga tazibalidde ku mutemwa ogwo (kubanga zirina omulimu gwazo), ate ne basolooza obukadde 68 mu birabo, kitegeeza baasigadde babanjibwa obukadde obukunukkiriza 62 era n'ategeeza abagoberezi nti balina okusala amagezi okusonda ssente ezo ezibanjibwa.
 
Kyokka Bugingo teyalaze ngeri obukadde 140 bwe zaatuukibwako era omu ku bagoberezi yategeezezza Bukedde nti omusumba waabwe ennaku zino abatabudde kubanga mu kusooka yali tafa ku bya kusolooza ssente naye ennaku zino nti yayongera ggiya mu kuzisolooza ate nga ky'ekintu kye yavumiriranga ku basumba abalala.
 
Bugingo yeebazizza Simeon Kayiwa eyabaddeyo e Namboole era n'ategeeza nti ebigambo by'akabwa akaboggolera enjovu Kayiwa bye yayogedde nti Bugingo by'agenda okutambulirako mu kutegeka enkung'aana ezinaddako nti era mu nnaku ntono waakutegeeza abagoberezi olunaku lw'alonze okutegerako okusaba kwe yatuuma "Independence Night".
 
Okusaba kuno abadde akutegeka buli Lwakutaano olusooka mu October nga Uganda yeetegekera ameefuga wabula Paasita munne Jackson Senyonga bwe batalima kambugu yamuyise emabega n'asasula ab'ekisaawe ky'e Namboole ensimbi za myaka 4 mu maaso nga yeekwata olunaku lwerumu era ab'e Namboole ne bawandiikira Bugingo nga bamutegeeza nti omwaka guno gwe gusembyeyo ng'ategeka okusaba ku lunaku olwo.
 
Wabula Bugingo yagambye nti ebya Senyonga tabitidde era olunaku olupya Katonda lw'anaaba asazeewo ajja kululangirira era abantu balujjumbire.
 

Ebirala ku Bugingo

Bujingo atabuse ne mukyala we: Ensonga z'obutakkaanya bazitutte ku katuuti

 

Bugingo azimbidde omugole enju galikwoleka kw'okomya amaaso!!

 

Omusango gwa Paasita Bugingo ne mukyala we Naluswa

 

Teddy Bugingo addukidde mu kkooti Enkulu

 

‘Nze ne mmami tuli ku bunkenke'-Muwala wa Bugingo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...