TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okwagala okwokya Mitchel Hall e Makerere akwatiddwa

Agambibwa okwagala okwokya Mitchel Hall e Makerere akwatiddwa

Added 8th October 2019

POLIISI ekutte omuyizi wa Yunivasite e Makerere ku bigambibwa nti yabadde alina olukwe lw’okowkya ekisulo kya Mitchell Hall mwe babadde baamugobye oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’akikulira.

 Omuserikale ng'awerekera Balonda oluvannyuma lw'okukwatibwa

Omuserikale ng'awerekera Balonda oluvannyuma lw'okukwatibwa

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI ekutte omuyizi wa Yunivasite e Makerere ku bigambibwa nti yabadde alina olukwe lw'okowkya ekisulo kya Mitchell Hall mwe babadde baamugobye oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya n'akikulira.

Polly Balunda  asoma obusawo ng'ali mu mwaka 5 yeyakwatiddwa abaserikale okuva ku poliisi ya Yunivasite oluvannyuma lw'okutemezebwako akulira ekisulo kya Mitchell Hall, Frank  Mugizi  nga  Balonda bwe yabadde atiisizza okwokya ekisulo kino mwe babadde baamugoba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okukwata Balonda kyadiridde okufuna okwemulugunya okuva ku avunaanyizibwa ku kisulo kya Mitchell nga bwe yabadde alemedde mu kisulo so nga yabadde amulagidde okufuluma  oluvannyuma lw'okugwa ebigezo 3 nga yabadde alina okwesasulira natiisa okwokya ekisulo.

"Twafunye okwemulugunya okuva ewakulira ekisulo kya Mitchell Hall Mugizi  nti  Balonda yabadde amutiisizatiisiza okwokya ekisulo kino ate nga yamufunako amawulire nti ekisenge mwabadde asula abadde akikozesa ebintu ebirala era abaserikale ne bagenda n'akwatibwa ne baabako ebintu ebyobulabe bye basanzeeyo" Onyango bwe yategezezza.

 bizibiti ebyasangiddwa mu room ya alonda Ebizibiti ebyasangiddwa mu room ya Balonda.

 

Yagambye nti Balonda oluvannyuma lw'okugwa ebigezo 3  yabadde alina okuva mu kisulo abayizi abapya bayingire wabula n'alemeramu kuba omuyizi aba agudde ebigezo alina okwesasulira aw'okusula nga n'ekiseera kye okubeera mu kisulo kino kyabadde kiweddeko.

Yategeezezza nti omuwala eyasangiddwa ng'azirise mu kisenge Balonda mwabadde asula yaddusiddwa mu ddwaaliro okusobola okufuna obujanjabi nga kiteeberezebwa nti yabadde akozesezza ebiragala  nga kino kikakasa okwemulugunya kw'alabirira ekisulo kino nti Balonda abadde akozesa ekisenge kino mu bintu ebitasaana.

 Yagaseeko nti Balonda yagguddwaako omusango gw'okutisatiisa okutuusa obulabe ku muntu nga mu kiseera kino akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi y'e Makerere ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...

Mzee Kiwalabye. Abaddako be batabani be; Nkolo, Sssevume ne Ssebuliba abagambibwa okutta kitaabwe

Poliisi ekutte abagambibwa ...

POLISI y’e Kaikiri ekutte abooluganda basatu abagambibwa okwekobaana ne batta kitaabwe Wilson Kiwalabye olw’obutabagabira...

Omuwala atanneetuuka gwe baafunyisizza olubuto.

Abapoliisi basattira ku by'...

ABASERIKALE ba poliisi mu disitulikiti y’e Hoima babiri basattira olw’okuyimbula omusajja eyafunyisa omwana atanneetuuka...