TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Hamza asitudde abagagga ng'akyala ewa Ssenga wa Rema

Hamza asitudde abagagga ng'akyala ewa Ssenga wa Rema

Added 9th October 2019

OMUKOLO gw’okwanjula kw’omuyimbi Rema Namakula gweyongeddemu ebbugumu, Dr. Hamza Sebunya bw’afulumizza olukalala lw’abagagga b’omu Kampala abagenda okumuwerekera ewa ssenga we ku Lwokusatu lwa wiiki eno (olwaleero) nga bakulembeddwaamu ssentebe w’abagagga b’omu Kampala, Godfrey Kirumira.

 Hamza ne Rema nga bamema

Hamza ne Rema nga bamema

Sebunya okwawukana ku basawo abalala abalowooza okwanjulwa bakyala baabwe oba okukyala ewa ssenga ku lukaalala ne basookako basawo bannaabwe, ye asooseeko bagagga.

Ku Lwokusatu essaawa 6:00 ez'omu tuntu, Sebunya ng'akulembeddwaamu kitaawe omuto, Godfrey Kirumira, baakusitula okuva ku wooteeri emu mu Kampala (amannya galekeddwa) bagende ewa ssenga wa Rema Namakula e Naggulu okukyalayo mu butongole era ng'ebintu bye batwala ababirabyeko baasoose kulowooza nti bya kwanjula.

Ku bagagga abalala abalina ebizimbe mu Kampala abagenda okuwerekera Sebunya kuliko omugagga omuto Hamis Kiggundu (Ham), Dick Kizito owa Kizito Towers, Kizito Kabonge owa Kide Hardware e Nakasero, John Bagambe owa Super Oil, Williams Kajoba owa Willox's Commodity, Agnes Babirye owa Parkview, Sarah Nkonge owa Sarah Modern Acarde ku Nasser Road ne Teopisita Nabbaale owa Makenzzie Arcade ku Namirembe road.

Bangi ku bano balina ebizimbe ebisukka mu kimu. Ensonda ku lusegere lwa Dr. Sebunya zigamba nti ssenga yamusabye abantu 20 bokka era n'alondayo abagagga 10, n'aba famire ye bataano, ssaako abasawo b'akola nabo bataano.

Wadde ssenga yabadde amugambye nti tayagala bintu okuggyako okulaba omusajja wa muwala we, bagende okutuuka nga November 14,2019 okwanjulwa e Nabbingo nga amumanyi bulungi. Kyokka abagagga bo bayiyeemu ssente mpitirivu.

Baguze obusawo bwa sukaali 20, omuceere ensawo 20, ebisambi by'ennyama mukaaga, sooda kuleeti 50 ne kalonda omulala mungi omuli n'engoye za bassenga ba Rema Namakula era essaawa eno Rema yasimbudde dda.

Kati ennaku ssatu asula wa ssenga e Naggulu gye bagenda okukyala amutendeke bukodyo obw'engeri omukyala omufumbo bw'alina okuyisa bba n'okugumira okusoomoozebwa kwonna kw'ayinza okusanga mu bufumbo gye bujja.

Rema ategese obukadde 200 ez'omukolo gw'okwanjula

Omusajja wa Rema omupya aleseewo omukazi omulala

Rema kati asula wa Hamzah

Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu

Ensibuko ya Rema etabudde abaamukuza

Rema amalirizza okugula eby'omukolo

Wuuno omuwala Hamza gwe yasuddewo

Rema Namakula agudde mu bintu

Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

Bebe Cool agobye omuyimbi Rema Namakula mu kibiina kya Gagamel

Rema Namakula takyagatta buliri na Eddy Kenzo?

Muwala wange ye mukwano gwange asinga - Rema Namakula

Aamaal ayongedde ggiya mu laavu yaffe - Kenzo

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...