
Okukuza emikolo gy'Ameefuga ag'omulundi ogwa 57 okwategekeddwa bannakibiina kya FDC ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi gitandise nga gyetabiddwako pulezidenti w'ekibiina kino, Ying. Patrick Oboi Amuriat, akulira oluda oluwabula gavumenti mu palamenti Betty Achan Aol, ababaka; Ssemujju Nganda ne Kabaziguruka n'abakulembeze abalala bangi.
Wabula okwawukanako n'emirundi emirala leero poliisi terina gwekugidde kwetaba kubikujjuko bino era embeera ya mirembe.
Kyokka oluvannyuma, Poliisi n'amagye basazeeko ekitebe kya FDC e Najjanankumbi okubatangira okubaako akavuyo konna ke beetabamu.








