TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwaki Rema emikolo agitutte wa mugenzi Mabiriizi

Lwaki Rema emikolo agitutte wa mugenzi Mabiriizi

Gwe gukulembedde okwanjula okulibaawo nga November 14, e Nabbingo ku lw’e Masaka.

 Bamaama ba Rema ne muwala waabwe (wakati). Ku kkono ye Winnie Mabiriizi, awaabadde omukolo.

Bamaama ba Rema ne muwala waabwe (wakati). Ku kkono ye Winnie Mabiriizi, awaabadde omukolo.

Bya Josephat Seguya, Joseph Mutebi ne Martin Ndijjo
 
Rema Namakula yayanirizza Dr. Hamza Sebunya ewa ssenga n'amugamba: Hamza mukwano gwange, omwagalwa wange era taata wange; weebale kunnaaza maziga.
 
Sebunya yakyadde ewa ssenga wa Rema ayitibwa Sarah Nabatanzi ku mukolo ogwabadde mu maka g'omugenzi Godfrey Mabiriizi e Nagulu.
 
Muka Mabiriizi, Winnie Nakyejwe yategeezezza Bukedde nti muganda wa maama wa Rema ekitegeeza Rema muwala we yennyini.
 
Ssenga yasazeewo omukolo gubeere wano. Gwabadde mukolo gwa kitiibwa
oguyinza okugeraageranyizibwa ku mbaga.
 
Gwe gukulembedde okwanjula okulibaawo nga November 14, e Nabbingo ku lw'e Masaka.
 akkiddaawo ngakulembeddemu okutwala ebirabo Bakkiddaawo ng'akulembeddemu okutwala ebirabo.

 

 
Sebunya yasimbudde ku Hotel Africana ng'ali n'ebikonge okuli Godfrey Kirumira ne mukazi we Grace Namara, Freeman Kiyimba, John Bagambe owa Super Oil, William
Kajoba, Sarah Nkonge, Francis Nshekanabo, Teopista Nabbaale, Hajji Meddie Ssebaggala, Moses Bagalya n'abalala.
 
Baatutte ebintu bingi ng'ebisinga byakulya okuli omuceere, sukaali, amatooke, ennyama, sooda n'ebirala.
 
Nga tebannasimbula, Sebunya eyanekedde mu kkanzu n'ekkooti emmyuufu n'entalabuusi ku mutwe yasoose kwebaza abaamuwerekeddeko.
 
Yagambye nti, "okukyala mukolo mutono, omunene gwa kwanjula era tugwetegekedde." Yalonze Muzeeyi Bakkiddaawo Sendagire okuba omwogezi.
 
 
Nga batuuse ewa ssenga, baayaniriziddwa omwogezi wa Rema, Issa Musoke eyabadde ne maneja wa Rema- Godfrey Kayemba, Musa Kavuma KT, Mukiibi Muzzanganda
n'abalala. Baatuukidde mu ddiiro olwo Rema n'avaayo ng'anekedde mu busuuti emmyuufu okwabadde eky'omu bulago ekya zzaabu nga ne ku ngalo ataddeko mpeta bbiri nazo nga za zzaabu.
 
Omukolo baaguyisizza mu bwangu. Rema yatudde awali Sebunya n'amwanjulira abazadde nti "ono ye sswiiti wange gwe njagala ennyo."
 
 
Yakutte Sebunya ku mukono ne bafuluma okumulaga eri abaabadde mu kidaala nga bazinira ku luyimba lwa Diamond Platinumz olwa ‘Kwangwalu'.
 
Amazina baasoose kugeetegekera kubanga baazinidde ku nnyimba eziwerako ng'era bazina gafaanagana. Bannyina ba Sebunya abaakulembeddwa Faridah Kibirige baatonedde Rema ebirabo okuli Kulaani, omusaalo n'akakaaya.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Katikkiro akunze Abaganda o...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Eyatemudde mukwano gwe n'am...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e...

Halima Namakula.

Halimah Namakula awakanyizz...

Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza...

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...