
Omugenzi Kahuma.
Bya Ponsiano Nsimbi
Abatemu abatanategeerekeka bayingiridde omusuubuzi w'e Kawuku Ggaba, Medi Kahuma ne bamutugira mu buliri.
Oluvannyuma ne bakuliita n'emmotoka ye ekika kya Benz nnamba UAZ725M, Laptop, engoye, engatto n'ebiwandiiko eby'omugaso bingi.

Ettemu lino libaddewo mu kiro ekyakeesezza leero (Olwokuna).
Poliisi omulambo egutte mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja era ekutte muganzi wa Kahuma ategeerekeseeko erya Anitah agiyambeko mu kunoonyereza.

Amaka g'omugenzi we baamutugidde.
