TOP

Ettaka libuutikidde abazimbi ewa Bakuli

Added 11th October 2019

ETTAKA libuutikidde abantu abamu ne bafa ku kizimbe ekizimbibwa ewa Bakuli mu Kampala.

 Poliisi ng'etuuse mu kifo awagudde enjega eno.

Poliisi ng'etuuse mu kifo awagudde enjega eno.

Bya JOSEPH MAKUMBI  

ETTAKA libuutikidde abantu abamu ne bafa ku kizimbe ekizimbibwa ewa Bakuli mu Kampala.

Ekizimbe kino kiri ku kkubo eriva ku bitaala ewa Bakuli okuyunga ku Lubaga road.

Baatandika okukizimba ne bayiwa enkokoto ku ludda olumu olw'omusingi wabula ku Lwokutaano baabadde bakedde okuyikuula ku ludda olulala bongere okuzimba ng'oludda lwe basima luliko kabuyonjo ey'ekinnya ettaka ne libumbulukuka ne libuutikira abaabadde wansi.

alt=''

 

Lyabumbulukuse ku saawa nga 3:00 ez'enkya kyokka wezaaweredde saawa 6:00 mu ttuntu nga baakaggyayo omulambo gumu ogw'omusajja eyabadde ategeerekese nga Henry Kizza kyokka ng'erinnya likyatankanibwa.

 

Okusiziira ku Livingstone Kandiho aduumira ebikwekweto ku poliisi ya Kampalamukadde, ettaka bwe lyabumbulukuse abaabadde bakola ku kizimbe basoose kubikweka poliisi ne baggyayo omulambo ne bagukweka, ebyuma bye babadd ebakozesa ne tulakita ezisima ne bazikweka.

 

Poliisi weyajjidde yaggyeyo omusajja ne bamuteeka mu ambyulensi okumutwala e Mulago era okusinziira ku Michael Ssebbanja eyabadde avuga ambyulensi, webaamutuusirizza e Mulago ng'akutuse omugongo yabadde tasobola kuyimirira wadde okutuula.

Poliisi yategeezezza nti kkamera ezaabadde ku kifo nga zikwata ebifaananyi, abakozi baaziggyewo ne kompyuta okwabadde ebifaananyi baagenze okuzituukako ng'ebifaananyi babisanguddemu. Nannyini kizimbe yabadde tannaba kutegeerekeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...