TOP

Amasasi ganyose ku Arua Park

Added 11th October 2019

Dereeva wa takisi olwakitegedde nti asse omuntu yabuuse mu mmotoka neyeesogga munda mu Poliisi ya Nile Coach,eriranyeewo, olw'okutya abantu abaabadde beesaze akajegere nga baagala okumumiza omusu.

 Takisi abatuuze gya baabadde baagala okukumako omuliro.

Takisi abatuuze gya baabadde baagala okukumako omuliro.

Bya STUART YIGA 

AMASASI ganyoose abantu ne babuna emiwabo ku Arua Park, oluvannyuma lw'omugoba wa takisi okumulemerera n'atomera omusituzi w'emigugu eyategeerekese nga Mambo Sebi, naamuttirawo.

Muganda w'omugenzi Abbas Muzamir, yategeezezza Bukedde, nti takisi nnamba UAW 402N, yavudde ku luguudo lwa Kampala Road kyokka bwe yawese ku luguudo lwa Johnson ng'ayolekera ku Arua Park, yawese omulundi gumu n'ekwata eridda ku luguudo lwa Wilson gye yasanze Mambo, n'amusaabala.

 Abamu ku baakwatiddwa.

Dereeva wa takisi olwakitegedde nti asse omuntu yabuuse mu mmotoka neyeesogga munda mu Poliisi ya Nile Coach,eriranyeewo, olw'okutya abantu abaabadde beesaze akajegere nga baagala okumumiza omusu. 

Kino kyajje abasuubuzi mu mbeera  ne balumba Poliisi eno nga baagala baggyemu ddereeva bo bamwekolereko ekintu Poliisi kye yagaanye era neekola kyonna ekisoboka okulaba ng'emutaasa n'emmotoka ye obutagikumako muliro nga bwe baabadde bateeseteese.

 bamu ku baakwatiddwa Abamu ku baakwatiddwa.

 

Poliisi yalabye embeera esajjuse neewandagaza amasasi mu bbanga n'okukuba omukka ogubalagala mu bantu abaabadde beesaze akajegere.

Ekyewuunyisa bino byonna Poliisi yabikoze kyokka nga bo abasuubuzi nga bongera ku balumba nga kwebagasse okubakasukira amayinja agoomujjirano.

 Omukazi ng'alaajana obutamukuba na mwana we.

Kino kyawalirizza Poliisi okwongera ku bungi bw'abaserikale ababaddewo era kabangali zaabwe okuva ku Poliisi y'oku CPS, oluvannyuma zaayingiddewo nga zikubyeko abaserikale ne bazza embeera mu nteeko.

Bano webaatuukidde ng'abasuubuzi baleese amafuta n'ebipiira nga beesomye okwokya takisi eyaviiriddeko okufa kwa munnaabwe.

 oliisi ngesazeeko ekitundu Poliisi ng'esazeeko ekitundu.

 

Waayise akaseera mpaawo wekaaga n'amagye saako abaserikale ba LDU nabo ne baayingirawo era okukkakkana nga baliko abantu be baakutte nga kigambibwa nti be baabadde bakuma mubannaabwe omuliro okwekakalakaasa nga baagala okwokya takisi Poliisi ky'egamba nti kyandiviiriddeko omuliro okwokya emizimbe ebiriranyeewo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...