TOP

Bannayuganda e SouthAfrica banaafuna densite

Added 11th October 2019

OMUBAKA wa Uganda e South Afrika, Barbra Nekesa ategeezezza nti Bannayuganda abali ku kyeyo e South Afrika nti bagenda kuwandisibwa n’okuweebwa densite ne paasipooti nga bali eyo mu kifo ky’okukomangawo okubifunira wano.

 Nekesa (wakati) n'ababaka e South Africa.

Nekesa (wakati) n'ababaka e South Africa.

Bya MUWANGA KAKOOZA

OMUBAKA wa Uganda e South Afrika, Barbra Nekesa ategeezezza nti Bannayuganda abali ku kyeyo e South Afrika nti bagenda kuwandisibwa n'okuweebwa densite ne paasipooti nga bali eyo mu kifo ky'okukomangawo okubifunira wano.

Nekesa yagambye nti okufuna paasipooti ey'omulembe eya ‘East African Passport' Bannayuganda babadde balina kusooka kukomawo wano kyokka bigenda kukyuka.

            Nekesa yagambye nti ekitebe kya Uganda e South Afrika nga kikolagana n'ekitongole ekiwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA kyatuusizza obuweereza mu ggwanga eryo ekigenda okusobozesa Bannayuganda okwewandisizza mu ggwanga eryo baweebwe densite.

            Bino yabyogeredde ku mukolo gw'okukuza ameefuga ga Uganda ogwabadde ku kitebe ekyo e Pretoria. Omukolo gwetabiddwaako ababaka ba Uganda mu palamenti ya Afrika okuli Okot Ogong ne Polof. Ogenga Latigo ne Bannayuganda nga kikumi.

            Kyategeezeddwa  nti abakulira NIRA baagambye nti Bannayuganda ababeera e South Afrika bagende beewandisize ku kitebe kyabwe era oluvannyuma lw'okwewandiisa ebintu bijja kuleetebwa e Kampala kaadi zaabwe zikubwe.

            Era baagambye nti mu kifo kya LC n'omukono gwa gw'akulira ebyokwerinda ku disitulikiti , abali e South Afrika bajja kweyambisa akulira ekibiina ekigatta Bannayuganda ababeerayo wamu n'abakungu b'oku kitebe kya Uganda mu ggwanga eryo okukaksa nti eyewandiisa Munnayuganda.           

            Kyategeezeddwa  nti abakozi ku kitebe bamaze okutendekebwa ku kye balina okukola nga bawandiisa Bannayuganda. Era oluvannyuma lwa densite okukubwa zijja kuwerezebwa e South Afrika.

            Irene Jogole avunaanyizibwa ku by'abantu abaagala okuyingira n'okufuluma Uganda ng'atuula ku kitebe kya Uganda e South Afrika yagambye nti ekitebe era kijja kuwa abatuuze b'e South Afrika abaagala okujja mu Uganda Viza. Era n'ategeeza nti akyayongera okwetegekereza engeri y'okuddamu okukola ku by'okuwa Bannayuganda paasipooti empya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...