
Mu buyiiya buno nga tukamula omuddo n'okugattako omutindo ku bintu byaffe ekitumbula ehhombo ya ‘Gula ebya Uganda Zimba Uganda', abategesi b'omwoleso gwa bannamakolero aba Uganda Manufacturers Association (UMA) baatulonze ng'abayiiya abasinze mu Uganda.
Noolwekyo ssinga gavumenti eyongera okukwata ku bayiiya kijja kusitula embeera z'abantu naddala abavubuka kubanga obuyiiya butondawo emirimu ate egikaabya abavubuka ensangi zino.
Bw'omala okukamulamu butto ate mwattu kalina emigaso emirala gye njabadde otegeere.
Shakespeare omuwandiisi w'ebitabo n'emizannyo yakayita akaddo ak'okujjukira, era n'Abamisiri baamukozesanga mu bifo gye basinziza.
1 Rosemary ayamba obwongo okucamuka, ekitegeeza omuntu eyeerabira n'awugukawuguka ajja kukukolera kuba ayamba obwongo ne buba nga tebukoowa.
2 Akola ng'ekirungo ekireeta akawoowo mu muceere ne guwooma.
3 Abalina obuzibu bw'ekibumba, ayamba okutangira obutwa mu kibumba ng'akyoza olw'ekirungo kya Rosmaric acid ekimulimu.
4 Omusajja bw'omala okunaaba, ddira butto omusiige ku nsigo z'obusajja ajja kuyamba obutalwala mpanama ne kookolo w'obusajja.
5 Ku bakyala, abayamba ku situka n'okusiiyibwa kw'enviiri. Kino kivaako obulwadde awaka kubanga olumu olwetakula ate tanaaba mu ngalo olwo obuwuka obwo ate ne bufuuka obw'obulabe ssinga akwata ku byokulya.
6 Ssinga omukyala amwesiiga ng'amutabudde mu bizigo, anyiriza n'okugonza olususu.
7 Rosemary ayamba abantu abavudde ku biragalalaga obutaddamu kufuna kyoyooyo n'obutakosebwa.
8 Alumizibwa ng'oli mu nsonga ajja kukuyamba okumalawo obulumi obwo ate ayoza n'enseke.
9 Akola ku kutambuza omusaayi ne kiyamba omuntu obutazimba bigere n'omubiri olw'omusaayi obutatambula bulungi.
10 Abakyala basobola okumukozesa okweyoteza ne bagoba endwadde wansi mu bukyala. Kino kiyamba naddala abo abalumbibwa yinfekisoni, abazibikira enseke n'abafuna ebizimba mu nnabaana.
11 Ayoza munda, edda bajjajjaffe baakozesanga omuddo olwo omukyala n'asitamako omukka oguvaamu ne gumwoza munda. Kino okikola ng'okozesa amazzi agabuguma n'otuulako ne weeyoteza.
12 Osobola okumukozesa okunyumunguza mu kamwa, abalumizibwa amannyo n'okuwona ekisu mu kamwa.
13 Ebisinga awo tujja kubisanga mu musomo gwaffe ogwa Sundowner ogukomyewo tuddemu okuyiga bwe bagattako omutindo.
Tugenda kubeera ku Sharing e Nsambya. Mu musomo gwa ‘The Great Sundowner' Nga October 31, 2019.
Tujja kuyiga ebintu eby'enjawulo omuli, enkuuma y'amatooke amawaate, okwekolera ebirungo by'enkoko n'okekkereza, enteekateeka y'ekitiko (Cumbucha), ennima ya Lavender n'okugattako omutindo, amamera g'obulo abakola emmere y'ebisolo, okulunda ebiwuka ng'emmere y'ebyennyanja n'enkoko n'ebirala.
Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.