TOP

Pulugulaamu ya Kenzo okudda e Uganda ewanvuye

Added 13th October 2019

Omuyimbi Eddie Kenzo eby’okudda mu Uganda si byakaakati kubanga ayongedde okufuna ebivvulu by’agenda okuyimbiramu mu mawanga ag’enjawulo ng’ayinza kudda mu December ng’omukolo gwa Rema guwedde.

Eddy Kenzo

Eddy Kenzo

Omuyimbi Eddie Kenzo eby'okudda mu Uganda si byakaakati kubanga ayongedde okufuna ebivvulu by'agenda okuyimbiramu mu mawanga ag'enjawulo ng'ayinza kudda mu December ng'omukolo gwa Rema guwedde.

Yasin Kiragga poromoota wa Kenzo e Canada yategeezezza nti omuntu we apangisibwa nnyo mu kiseera kino nga ne ku Lwomukaaga, yabadde mu ggwanga lya Colombia mu kibuga Medellin.

Kiragga yagambye nti baakoze ekisoboka kyonna okubudaabuda omuntu waabwe n'atereera oluvannyuma lw'ebigambo bya Sheikh Muzaata ebyamukosezza naddala eky'okumugamba agende awase nnyina mu maaso ga muwala we.

Yagambye nti okuva Kenzo lwe yagenda mu Amerika mu August w'omwaka guno bafunye ebivvulu bingi nakati bikyajja era bino tebijja kusobozesa muntu waabwe kukomawo mangu.

Wabula Kiragga yannyonnyodde nti Kenzo obutakomawo mu kiseera kino takikoze lwa kwewala mikolo gya Rema nga bwe bawulira abantu abamu boogera wabula kivudde ku bizinensi ey'amaanyi n'okuyaayaanirwa kw'aliko mu kiseera kino.

Ku Lwokusatu lwa wiiki eno okwabadde omukolo gwa Rema ogw'okukyala, Kenzo yabadde asuubirwa mu kivvulu ekyabadde mu Labonita ekyatuumiddwa Masappe kyokka teyasobodde kubeerawo olw'emirimu gy'akyaliko ebweru, naye ng'abamu balumiriza nti obutabaawo kyabadde kigenderere okwewala emikolo gya Rema.

Kenzo kati agenda Washington wiiki ejja abeere n'ekivvulu e Newyork, Dubai, ng'ekye Canada bakyongeddeyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...