TOP

Ajereze omukazi n'anyiiga n'amuyiira olweje

Added 13th October 2019

POLIISI ekutte omukazi agambibwa okwokya mukwano gwe olweje oluvannyuma lw’okumujerega.

 Kalyango ng’alaga ebiwundu bye yafunye.

Kalyango ng’alaga ebiwundu bye yafunye.

Rativa Namanda 28, ow'e Makindye - Mayanja zooni, akuumibwa ku poliisi y'e Katwe oluvannyuma lw'okwokya Med Kalyango amazzi eyabadde amujerenga n'atyoboola erinnya lye.

Namanda olwatuusiddwa ku poliisi y'e Katwe yategeezezza nti Kalyango abadde ayitirizz okumuvuma ng'amujerenga nti atunda manda ng'erinnya lye Namanda nga kino kye kyamuggye mu mbeera n'akwata ebbinika y'amazzi agookya n'agamuyiira.

Kalyango yakubye enduulu eyasombodde abatuuze ne bakwata Namanda eyabadde agezaako okudduka kyokka abatuuze baategeezezza poliisi nti Namanda ne gye yava okujja ku kyalo yayokya omwana wa muggya we omubiri gwonna era ono mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y'e Katwe gye yagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD: 19/08/10/2019.

Oluvannyuma Kalyango yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu gy'ajjanjabirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...