TOP

Ab'e Katooke beegugunze ne baziba oluguudo

Added 13th October 2019

ABATUUZE b'e Nabweru mu Kibwa beegugunze ne baziba oluguudo lw'e Katooke - Kibwa nga balaga obutali bumativu olw'embeera oluguudo mwe luli.

 

Bakumye omuliro nokwongera okusima ebinnya mu oluguudo lwonna nga bagamba nti telukyabayamba okuggyako okwonoona ebidduka byaabwe.

Oluguudo luno lusaagibwa mu munisipaali y'eNansana mu disitulikiti y'e wakiso.

Abatuuze bagambye nti oluguudo lwabwe lwasemba okulimwa emyaka esatu egiyise kyokka nga bbo basasula omusolo buli mwaka.

Embeera y'oluguudo bagitadde Ku bakulembeze baabwe,bebagambye nti tebakoze kimala.

Okwekalakas kuno kuviiriddeko entambula okusannyalala mu kitundu kino.

Reginah Bakitte meeya wa munisipaali y'e Nansana , yagabye nti alese ebimotoka ebirima enguudo nga byakweyambisibwa abantu bonna mu kitundu kino.

Asabye abatuuze obutawuddisibwa abakulembeze abalina ebigendererwa byaabwe ng'abantu.

Poliisi okuva e Nansana  ng'eyambibwaako abasirikale ba LDU bazze nebayogera n'abatuuze.

Oluvannyuma abantu bakakannye embeera nedda mu nteeko.





















 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....