TOP

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba

Added 14th October 2019

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu ekyawulo ekyalo kya Bbuto ne Namugongo mu ng'ali mu nsiko alinga eyakubiddwa kalifoomu tategeera biri mu nsi!

 Nagujja ng'ali ku Polisi mu Bbuto

Nagujja ng'ali ku Polisi mu Bbuto

Ono oluvannyuma azuuse nga mutuuze w'e Kasangati mu Buyinja zooni atwaliddwa ku poliisi e Bbuto gy'akyakuumirwa ng'okunoonyereza ku ngeri gye yatuuse mu Bbuto bwe kugenda mu maaso. 

Nagujja yalondeddwa omugoba wa bodaboda Yosam Kamya, eyabadde ava e Namugongo okudda e Bweyogerere, eyamulabye mu nsiko ng'akyamye okufuuyisa kwe kugenda ku Polisi n'abatemyako. 

Nagujja oluzze engulu ng'ali ku poliisi, ategeezezza nti  yavudde awaka ku ssaawa 12 ez'olweggulo, ng'agenda okunona ebitengi bye  okuva ku mutunzi we yabireka  e Kira, bwe yalinnye bodaboda, we yakomye okutegeera  era agenze okudda engulu ng'ali ku poliisi ku makya. 

Nagujja bw'abuuziddwa  oba alina abantu ababadde bamutiisatiisa okumukolako ekintu kyonna eky'obulabe agambye nti mu nnaku ssatu eziyise bw'abadde ava ku mulimu, alina abasajja 2 abaabadde bamulondoola okuviira ddala ku kikubo ekidda e Nangabo, kyokka ekimwewunyisa bw'ayingira ekikomera w'asula, nga bayimirira nga beefuula abali mu mboozi zaabwe. 

‘Nabadde ne ssente eziwera emitwalo munaana mu nsawo naye zonna nkyazirina,   ne essimu zange nazo baazindekedde, okuggyako mpulira obulumi mu matama nninga gwe baakubye empi, mpozzi n'amaanyi sirina," Nagujja bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono