TOP

Ab'e Busujju beesunga mikolo gy'abavubuka

Added 15th October 2019

Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu ye yatuusizza obubaka buno eri Bannabusujju nga bwamutikiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okutegeeza abantu b’omu kitundu kino okwetegeka okwaniriza Kabaka.

 Minisita Henry Ssekabembe ( muttaayi) ng'akutte ensuwa eyabumbiddwa abavubuka b'e Kikonge mu ssaza ly'e Busujju. Wakati ye mubaka wa Busujju David Kalwanga

Minisita Henry Ssekabembe ( muttaayi) ng'akutte ensuwa eyabumbiddwa abavubuka b'e Kikonge mu ssaza ly'e Busujju. Wakati ye mubaka wa Busujju David Kalwanga

SSAABASAJJA Kabaka Mutebi II asiimye okukuliza olunaku lw'abavubuka mu ssaza ly'e Busujju ng'omukolo gwa kubaawo nga November 23, 2019.
 
Minisita  w'abavubuka, emizannyo n'okwewummuza mu Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu ye yatuusizza obubaka buno eri Bannabusujju nga bwamutikiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okutegeeza abantu b'omu kitundu kino okwetegeka okwaniriza Kabaka.
 
Mu lugendo luno Minisita Ssekabembe n'abakulu mu ssaza ly'e Busujju okwabadde Omwami w'essaza lino Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II n'omubaka wa Palamenti David Kalwanga baalambudde ebitundu eby'enjawulo mu ssaza lino nga bakunga abantu naddala abavubuka okwenyigira mu mukolo guno.
 
Basisinkanye abavubuka e Kiwawu nga batandikawo SACCO era ssentebe waabwe Joseph Nsubuga yeebazizza olw'omukisa guno ogubawereddwa era ne basuubiza nga bwe bagenda  okugwaniiriza n'emikono ebbiri.
 
Omwogezi w'ekibiina kya Ksk Pottery Base e Kikonge yategeezezza nga bwe beetaaga okuyambibwa naddala ku kyuma ekisobola okukuba obulungi ebbumba.
 
Baalaze Ssekabembe olusuku lw'omuvubuka Christopher Nsimbe akola nga omuwanika w'essaza ly'e Busujju nga wano we yasinzide n'akubiriza abavubuka obuteekubagiza wabula bakole emirimu mwe basobola okuggya ensimbi era bave ku mize okuli okunywa omwenge, enjaga n'ebirala kubanga tebibagasa.
 
Ebifo ebirala Ssekabembe bye yalabudde kwabaddeko; John Bosco Kitatta e Kanyale ng'alina yiika 12 ez'emmweaanyi n'ebitooke era ng'alunda.Tom Kafumbirwango e Kalyankoko ng'alina yiika 12 ez'emmwaanyi n'ebitooke eyagambye nti obulamu yabugonza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.