TOP

Abakozi b'omu bikajjo bookezza emmotoka

Added 15th October 2019

ABAKOZI mu bikajjo bya kkampuni ekola sukaali eya Kakira sugar works ey’omugagga Madhvan bazzeemu okukola effujjo bwe bookezza emmotoka kika kya Fuso nnamba UAX 832A kwe baabadde batambulira n’okutema abantu.

 emmotoka abakozi b'omu bikajjo gye baayokezza

emmotoka abakozi b'omu bikajjo gye baayokezza

ABAKOZI mu bikajjo bya kkampuni ekola sukaali eya Kakira sugar works ey'omugagga Madhvan bazzeemu okukola effujjo bwe bookezza emmotoka kika kya Fuso nnamba UAX 832A kwe baabadde batambulira n'okutema abantu.
 
Bino byabadde mu ssamba y'ebikajjo bya Madhvan esangibwa ku kyalo Namataala mu ggombolola y'e Bbaale mu disitulikiti y'e Kayunga.
Emmotoka yakola endagaano n'aba kkampuni ya Madhvan okutambuza abakozi nga bagenda okukola mu bikajjo.
 
Abakozi bazze batuusa ebisago ku bantu abenjawulo okuli ne munnamawulire wa Bukedde, Amon Mukasa gye buvuddeko.
Abatuuze baawanjagidde gavumenti eyogeraganye n'omugagga Madhvan ku nsonga z'effujjo abakozi be.
 
Baasoose kwagala kutematema ddereeva ayitibwa Badru Bunaanyuma n'addukira mu
bikajjo era n'okutuusa kati tamanyiddwako mayitire kubanga n'amasimu ge tegaliiko.
 
Oluvanyuma poliisi okuva e Bbaale yazze ne n'egobagana n'abasajja ba Madhvan era beeyokya ebikajjo ne babula.
 
Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza era bonna abanaazuulibwa nga beetabye mu ffujjo lino baakukwatibwa bavunaanibwe.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...