TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awadde Sabiiti ekiragiro ku batta abantu

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro ku batta abantu

Added 15th October 2019

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo n’enkola ennambulukufu okulwanyisa abatta abantu.

Museveni

Museveni

Bya MUSASI WAFFE

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo n'enkola ennambulukufu okulwanyisa abatta abantu.

Muzeeyi y'amyuka Martins Okoth Ochola.

Museveni mu kiragiro kino yatageezezza nti awulira yeetamiddwa abatemu be yayise ‘embizzi' abatta abantu nga bakozesa ebijambiya n'emitayimbwa olwo ne balyoka babakolako obunyazi obw'enjawulo.

 abiiti Sabiiti

 

Bino we bijjidde nga ku Mmande abatemu baateeze omusuubuzi Joseph Baguma ku maka ge e Kisubi ku lw'e Ntebe ne bamutemaatema ssaako okubba ssente ezisoba mu bukadde 100.

Era ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, abatemu baayingiridde omugagga mu bitundu by'e Garuga ne bamutemula.

Ku lunaku lwe lumu abakubi b'obutayimbwa baataayizza omuserikale Joshua Tusingire akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku CPS ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa.

Museveni yategeezezza nti yabadde akyali mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia naye bw'anaakomawo ajja kusooka kuyita mu pulaani ya Sabiiti olwo bw'anakkaanya nayo ajanjulire eggwanga abantu bonna bamanye engeri gy'agenda okulwanyisaamu ettemu lino.

Omuduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola tali mu ggwanga ng'aliko olukuhhaana lwe yagendamu e Peru.

Mu kiwandiiko Museveni kye yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook ng'abuulira abazzukulu ne Bannayuganda bonna, yategeezezza nti abatemu bangu nnyo okutuula ku nfeete n'awera nti baakufaafagana nabo okulaba ng'abantu babeera mu ggwanga mu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....